Amawulire

Abadde asobya ku w’emyaka 15 ,amuse mu bukambwe!

Poliisi e Mubende ekutte omusajja ku misango gy’okutta omwana mu kiro, ku kyalo Buganya mu ggoombolola y’e Butologo.

Akandwanaho Godfrey myaka 21, nga mutuuze ku kyalo ekyo, yakwatiddwa ku by’okutta Kansimire Sarah myaka 15.

Okunoonyereza kulaga nti taata w’omwana yasenguka okuva e Kyankwanzi mu Febwali, 2023 ne famire, ne basenga okumpi n’amaka g’omutemu.

Taata yasaba omutemu akwatiddwa, okupangisa ku nnyumba ze, nga naye bw’azimba amakaage.

Omutemu, yasalawo okuyamba taata, abaana abawala 2, okusula mu nju ye omuli n’omugenzi.

Kigambibwa, omutemu abadde asobya ku mwana okumala ebbanga eriwera.

Wabula, omutemu yasobodde okulaba omuwala ng’alina layisi z’essimu 2, kwe kuteebereza nti alina abalenzi abalala.

Bwe yagenze mu kisenge kye obudde obw’ekiro okuddamu okumusobyako, omuwala yagaanye kwe kusalawo okudduka mu nnyumba.

Wabula yakutte ejjambiya yamugoba era yamutemye okutuusa lwe yafudde.

Poliisi esobodde okuzuula ejjambiya eyakozeseddwa okutta omwana nga n’omutemu, atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Mubende.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top