Amawulire

Omuko eyagenze okukima ebintu ku buko bamukwatiddeyo.

 

Essaawa zaagenze okuwera 7:00 ez’emisana ng’omuko Muhammed Yiga mutaka mu luggya lw’Omulangira David Ndawula ku kyalo Buloba- Bwotansimbi okugyayo ebintu bye yatwalayo ng’ayanjulwa Hanifa Namutebi.

Yiga nga mutuuze we Kalambi -Kiwumu ku luguudo lw’e Mityana yawerekeddwako mikwano gye kyokka ab’awaka okuli n’abadde mukyala we Namutebi olwabalabye nga bakyama ne beesibira mu nnyumba ekyawalirizza Yiga okudda ku luggi lw’emiryango n’akonkona nga bw’abasaba okumuggulira bamuwe ebintu bye.

Ono okutuuka ku mbeera eno kyaddiridde Namutebi okumwefuulira n’ategeeza nga bw’atamwagala nga n’olubuto lw’alina lwa musajja mulala ayategeerekeeseko erya Isaac eyasooka okubeera muganzi we nga tebannakwatagana ne Yiga.

Yiga yagambye nti okukwatagana ne Namutebi baasisinkana mu Gym e Buloba Kapeeka, Namutebi gye yali akolera era gye yamuggya ne batandika okubeera bonna mu muzigo gwe e Kiwumu-Kalambi.

Mu Febraury wa 2022 twakyala ewa ssenga e Iganga mu Busoga oluvannyuma mu December 17, 2022 ne tukola okwanjula n’okuwoowebwa e Buloba- Bwotansimbi ne mmuwa amahale ga mitwalo10 n’ebirabo ebirala okuli ttanka, entebe, engoye n’ebirala.

Kyokka ono agamba byamusoberwa ng’ebula wiiki ssatu omukolo gutuuke Namutebi bwe yamutegeeza nga taata bwe yali agaanye omukolo mu maka g’e Kasangati n’asalawo okugutwala ewa Jjajja we Ndawula e Bwotansimbi wabula eno nayo taata teyalinyayo ne ssenga gye baakyala teyalabikako ekyamuleetera ebibuuzo.

Yagambye nti bino tabibanja lwakuba munaku nnyo wabula bwe yafuna obuzibu ne Namutebi bwe yagenda mu bazadde okubabuulira ensonga baagaana okumuyamba ne bamwesamba okutuusa Namutebi bwe yasibamu ebibye ku Lwokuna lwa wiiki ewedde n’agenda.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top