Omuyimbi wa bbandi Sophie Nantogo alaze obutali bumativu olwa Sheebah Karungi okwegeza mu Cindy mu lutalo lw’okuyimba..
Mu mboozi ey’akafubo ne ttivvi emu, Sophie Nantogo yagambye nti Sheebah talina busobozi kuvuganya ne Cindy mu kuyimba era yeetegekera okulemererwa.
Nantogo yayongeddeko nti si kyabwenkanya Sheebah okwenyigira mu lutalo ne Cindy, kuba alaba ekituli kinene mu by’okuyimba wakati wa Sheebah ne Cindy, pulezidenti wa UMA (Uganda Musicians Association).
“Toyinza kuluyita lutalo ng’omu alina obukugu mu kuyimba ate ng’omulala talina. Sheebah tasobola Cindy,” Sophie bwe yategeezezza.
Nantogo agamba nti Sheebah yandibadde yeenyigira mu ntalo z’okuyimba n’abayimbi omuli; Spice Diana ne Karole Kasita, n’abalala abagwa mu kkowe eryo, so si Cindy.