Amawulire

NUP erangiridde entegeka y’okuddamu okutalaaga eggwanga.

Okusika omuguwa mu Nup kubagala entebbe ya distulikiti ye'Kayunga

 

Omukulembeze w’ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi Wine agugumbudde abakulembeze mu bibiina by’obufuzi kuludda oluvuganya government abalya mubanabwe enkwe nebatunda ebibiina byabwe mu kibiina ekiri mu buyinza.

Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine asinzidde mu lukungaana lwabanna mawulire e Kamwokya mu Kampala nategeeza nti ekiri mu kibiina kya FDC kikaabya amaziga, bwebiwulirwa nti ate abakulembeze ab’okuntikko bebaaakulembera enkwe  w’okuyingiza omusimbi mu kibiina, okuva mu makubo agatali malambulukufu.

Kyagulanyi alabudde banna byabufuziabalya mu lulime nemuluzise nti banansi babalaba ,wabula nakuutira aba NUP nti oli bwawulira nga atendewaliddwa ayagala kulya sente ayogere lwatu.

Kyagulanyi agambye nti nakaseera webaakolaganira ne FDC abakulembeze mu kibiina ekyo munda bebaalemesa enkolagana eyo okugenda mu maaso, nga baleetawo lutalo wakati w’bibiina byombiriri so nga baali beenoonyeza byabwe.

Wabula Kyagulanyi agambye bagenda kukolagana n’abamu kubakulembeze ba FDC abakyaali kumulamwa okununula eggwanga lino.

Kyagulanyi mungeri yemu alangiridde nga bwebagenda okutalaaga ebitundu bye ggwanga ebitali bimu nga ekibiina kyabwe kiggulawo ofiisi ze kibiina kino mu bitundu gyebitali.

Ayogedde ne kumbeera y’omubaka ssegirinya Muhammed gyalimu mu ggwanga elya Nethalands wabula nalabula banna Uganda ku banna byabufuzi abatandiise okukozesa obulwadde bw’omubaka ono nga ekubbo ery’okulumba ekibiina omubaka mwava, nga tebasoose kwetegereza nsonga.

Mu ngeri yeemu ekibiina kya National Unity Platform NUP kirangiriddde Aguda Moses agenda okubakwatira bendera mu kalulu ke Hoima akokulonda ssentebe wa district eno.

Ekibiina Kya NUP kigamba nti kibadde nabantu bangi NUP abagala okukwatira ekibiina kino bendera naye bamaliriza nga Aguda Moses gwebakkaanyizaako.

Omwogezi wa NUP Joel Ssenyonyi agambye nti wade nga obululu bwebabaddemu buzze bubeeramu ebizibu bingi, nti naye tebayinza kusirika busirisi nga balina ekkatala ery’okujjukiza banna Uganda omugabo gwebalina kunsi yabwe.

Ate ye Aguda Moses akwasidwa bendera agambye nti ekitundu kya Bunyoro kisanga okusoomozebwa kw’amaanyi olwobutagabana kyenkanyi ku byabugagga byebalina nga wano wagenda okutambuliza omulamwa gwe.

Ekifo kya ssentebe wa district ye Hoima kyasigala kikalu, ssentebe eyaliko bweyafiirq mu kabenje ku luguudo oluva e Hoima okudda e Kampala.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top