Omuyimbi Cinderella Sanyu amanyiddwa nga Cindy alina endowooza nti abakyala beetaaga okuyambako ennyo abaami mu by’amaka okusinga okulowooza ku by’akaboozi byokka.
Mu mboozi ey’akafubo n’owaamawulire, Cindy yannyonnyodde nti amaka mangi gasasika lwa bakyala abamu kulowooza nti okuwaayo akaboozi kwokka kimala.
Agamba nti wadde ng’okwegatta kikulu era kigeraageranyizibwa ku mmere eriibwa abantu, kyokka tekisobola kuyimirizaawo musajja mu maka. Cindy agamba nti abakyala basobola okuleeta bingi ku mmeeza okusinga okwegatta kwokka.