Amawulire

Sipiika Among waakuleeta Jackie Chandiru annyonnyole ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala.

 

Sipiika wa Palamenti Anita Annet Among asuubizza okukyaza abantu ab’enjawulo okwongera okunnyonnyola Bannayuganda abakyakalambidde ku nsonga y’amayirungi  ku kabi akali mu kukozesa ebiragalalagala.

Okwogera bino, kiddiridde Palamenti okuyisa etteeka lya Narcotic and Psychotropic Substances (contoll ) Bill, 2023  erikugira abalimi, abatunzi, abalya n’abatambuza amayirungi okuddamu okugenda mu maaso nga babikola era ebibonerezo eby’enjawulo ne biteekebwawo eri abanaawalaza empaka.

Among bw’abadde akubiriza olutuula lwa leero asiimye omuyimbi Jackie Chandiru olw’okuba n’obuvumu obuvumirira ebiragala ebyamukomya ku mugo gw’entaana ky’agamba nti kyamuwendo nnyo kubanga kiba kiwa eky’okuyiga ababikozesa.

Asuubizza okumukyaza mu Palamenti mu butongole okubeerako ensonga zaatangaaza ezeekuusa ku biragalalagala era ne yeeyama okukolagana naye okwongera okubirwanyisa mu ggwanga.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });