Tekinologiya

Aba MTN basisinkanye MusevenI , Bakusiga obukadde bwa Doola 300 mu myaka

Aba MTN basisinkanye MusevenI , Bakusiga obukadde bwa Doola 300 mu myaka

Mu mpenda ezatemebwa kkampuni y’empuliziganya MTN okukolagana n’abantu mu bintu, kyogeddwako Pulezidenti Museverni nga bwekiri eky’omugaso ennyo era kyeyagambye nti kiwa omukisa bannayuganda wamu n’ Abafirika okwenyigira mu mirimu kkampani gyekola.

Okufuula kkampuni ey’abantu kyamugaso nnyo kubanga abantu bonna baba beenyigiramu era kiggyawo okwemalirira mu bizinensi.

Pulesidenti Museveni yayozaayozezza obukulembeze bwa MTN olw’enteekateeka gye baakola okugaziya empeereza zaabwe okutuuka mu bitundu by’ebyalo n’okutumbula bizinensi. Okwogera bino yabadde asisinkanye abakungu mu MTN nga baakulembeddwamu ssentebe w’akakiiko akafuzi Mr. Mcebisi Hubert Janas eyamukubidde bwe yabadde mu makaage Entebe.

Mubalala abaabaddewo, ssenkulu wa kkampuni eno Mr. Ralph Mupita, Mr. Yolanda Cuba, Mr. Wim Van Helleputte ne Charles Mbire nga bano bakungu mu Kkampuni. Mu lukuŋŋaana luno mwetabiddwamu ne Minisita w’eggwanga mubya tekinologiya wamu ne Mky. Irene Kaggwa omukungu mu by’empuliziganya.

MTN Uganda gyebuddeko yalangirira ekigendererwa kyayo okuddiza abantu, ku migabo gyayo ebitundu 20 ku kikumi, era ekyatuukiridde nga eyita mu USE (Uganda securities Exchange).

Mr. Mcebisi yategeezezza Pulezidenti nti bafubye okutuusa kkampuni mu bantu mu bantu era Pulezidenti wakukyerabirako nga bafunye emigabo nga kyekigendererwa kya kkampani okulaba nga MTN efuuka ya bannayuganda.  Ono yategeezezza nti ebifo ebisinga obunene birimu bannayuganda nga otwaliddemu n’ekyo ekya ssenkulu wa MTN mu South Sudan. Era yagambye nti ekitongole yakusigala mu Uganda era nga kati egenda na kusiga ensimbi eziwerera ddala obukadde bwa Doola 300 mu myaka esatu egiddako. Era ono yasuubizza okuwaayo vakisiini z’okugema ekirwadde kya Covid 19 era n’okwongera obuweereza mu byalo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top