Amawulire

Ababaka okuva mu Buganda baagala abeesenza ku ttaka eririko enkaayana banoonyerezebweko.

AKABONDO k’ababaka ba palamenti abava mu Buganda baagala wabeewo okunoonyereza ku bantu abeesenza ku ttaka naddala eririko enkaayana, kimalewo obukubagaano mu bantu obuviiriddeko bangi okuttibwa.

Gye buvuddeko, pulezidenti Museveni bwe yali ayogera ku nsonga ezimu mu ggwanga yawakanya enkola y’ettaka lya Mayiro gye yagamba nti yaleetebwawo bakyeruppe nga yeemu ku nsibuko y’obuvuyo ku ttaka naddala mu Buganda kubanga teririiko bwannannyini ng’osanga abantu abawera ku ttaka limu naye nga buli omugamba alirinako ekyapa.

Museveni bw’atyo yagamba nti enkola eno esaana eggyibwewo n’abakyalina endowooza eyo ey’edda baviveeko kubanga obumenyi bw’amateeka bungi bugyetobesemu omuli n’okuttingana mu bakaayanira ettaka.

 

Mu lukungaana lw’abannamawulire lwe batuuziza ku palamenti, ababaka okuva mu Buganda nga bakulembeddwamu ssentebe waabwe, Muwanga Kivumbi era nga ye mubaka wa Butambala, bagambye nti bwe kibanga emivuyo ku ttaka mingi, wabeewo okunoonyereza ku bagamba nti balirinako ebyapa.

“Bwetasaba mayiro zaffe 900 bazitumma, ffe tetwagala yadde wabeewo okukyusibwa mu ssemateeka wabula twagala ensonga za Buganda zibeere za Buganda n’ebitundu ebirala bikole ku nsonga zaabyo era bwe wabaawo awali enkayaana, banoonyereze bamanye nnannyini omutuufu yaani” Kivumbu bw’ategezeeza.

Omubaka wa Buikwe South, Michael Lulume Bayiga agambye nti ekyennaku abagobaganya abantu ku ttaka beerimbika okuba nti bakolera gavumenti ng’ abantu nga bano basaanye okunonyerezebwako nabiki bye bakolera ku ttaka, okumanya nti oba tebaliiriko mu bukyamu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top