Amawulire

Abadde affera owa mobile money akubiddwa mizibu

Omuvubuka eyabadde agenze ku wa mobile money namugamba nga bw’awandiisa aba mobile money abagenda okuweebwa omulimu gw’okusindikira abantu ssente za Nabbanja akiguddeko abatuuze bwe bamutebuse ne bamukuba okumwogoloza.

omuvubuka ono yategeerekeseeko erya Walimbwa yagenze ku wa mobile money mu Mission Cell mu City y’e Mbale n’amutegeeza nga bwatambula ng’awandiisa aba mobile money abagenda okusindikira abantu ssente eziva ewa ssaabaminisita Robbina Nabbanja ng’okwewandiisa okufuna ekifo osasula emitwalo 3 okuweebwa foomu.

Owa mobile money yasoose kwekengera muvubuka ono, kyokka baabadde bakyayogerezaganya ne wajja omusajja eyabadde azze okugula Airtime kwe kulaba omukulu ono Walimbwa ng’ayambadde engatto ze ezamubbibwaako e Namakwekwe, awo wennyini weyamukwaatidde jjeeke n’akuba enduulu eyasombodde abatuuze ne bamusalira ekibinerezo kya kumukuba emiggo agakonde ne nsambaggere nga bwe bamulangira nga bwe bakoowa ababbi.

Owa Mobile money naye olwabagambye ku bya Nabbanja by’abadde amugamba awo ne batabukira ddala nebassaako okumwambula. Baamukubidde ddala era baalabye takyesobola ne bamulagira okugenda kubanga ekibonerezo ky’okumukuba ssaako okumwambula engoye emisana ttuku kyabadde kimumala tebaamututte ku poliisi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top