Ebyobufuzi

Obwa Pulezidenti ssi bwansikirano, Gen.Tumwine atabukidde M7 kubya Mutabani we okufuga

Obwa Pulezidenti ssi bwansikirano, Gen.Tumwine atabukidde M7

Abaddde minista w’ebyokwerinda, Ono nga y’omu ku bayekera 27 Pulezidenti museveni be yatandika n’abo mu lutalo olw’omunsiko olwaleeta gavumenti ya NRA mu buyinza Gen. Elly Tumwine atabukidde mukama we Gen. Yoweri kaguta Museveni kubigambibwa nti ategeka kuleeta Mutabani we Kubwa Pulezidenti.

Ono gye buvuddeko bwe yabadde akwasa  Maj.Gen.Jim Muhwezi eyamudidde muntebe nga minista w’ebyokwerinda, Gen.Tumwine,  yagambye nti nga pulezidenti Museveni bwe yamulonze okubeera omuwabuzi we kunsonga z’ebyobufuzi, agenda   kumuwa amagezi okulaba ng’ategeka okuwaayo obuyinza mubwangu awatali kuyiwa musaayi nga bbo bwe bakola nga bagya mubuyinza.

Gen.Tumwine eyabadde ayogera ne SSEKANOLYA ku ssimu yagambye nti,” nze ndi musajja mulwanirizi wa ddembe era ekyantwala munsiko kwe kulaba nga bannayuganda bafuna emirembe. pulezidenti museveni mwebaza era mutwala ng’ekyokulabirako ekikulu mubulamu bwange, naye kino kyekiseera okulaba nga Pulezidenti museveni ategeka okuwaayo obuyinza ate mumirembe.

Abantu bangi balowooza nti museveni atekateka Mutabani we muhoozi Kainorugaba okuba nga yamuddira mu bigere, ekyo kiyinza okuba ekituufu oba ekikyamu, naye nze ekyo sikiwagira kuba Uganda ssi yansikirano ng’obwakabaka bwa buganda bwe buli, Uganda etambulira kumusingi gw’amateeka era okukyuusa obuyinza kulina kuyita mumateeka nga ssemateeka bwagamba. Bannayuganda bebalina okwelondera pulezidenti wabwe gwe babeera Bagala nga bwe bazze balonda pulezidenti museveni ate mu mazima.

Gyebuvuddeko munnamagye era Minisita w’ebyomunda mu gwanga Gen.Kahinda Otafire yalumba Gen.Tumwine olw’ebigambo bye yayogera n’amutegeeza, lwaki teyabyogera ng’akyaali minista, wabula Tumwine n’ategeeza nga bwayinza okuba nga yayogeza busungu kuba yali asuuliddwa kubwa minista, wabula Tumwine yategezezza SSEKANOLYA nti,”  buli kintu kirina ekiseera kyakyo, nga Kati kino kye kiseera ye okuwabula kumukulu munne.

Ono yagambye nti yadde ng’enda kuwa pulezidenti amagezi okutegeka okuwayo obuyinza ate  mu mirembe, naye ate ffe abalwana ne tutuuka n’okuyiwa omusaayi, tetugenda kukirizza ggwanga lino lye tulwaniridde okumala ebbanga ate okulikwasa abavubuka abayaye abesoma n’okussnyawo ebintu byaffe nga batuuss mubuyinza.

Okuva olutalo lw’amenunula olwaleeta gavumenti ya NRA mu buyinza, bannansiko omuli Col.Kizza Besigye Kati owa FDC, Maj.Gen.Mugisha Muntu owa ANT, Maj.Gen.Henry Tumukunde, Gen.Sejjusa n’abalala abali bateka  sente mu lutalo luno, nga bakyali munsiko, era abamu nebatuuka n’okumwesimbako nga bagamba nti yava dda kumulamwa ogwabalwanya ate abalala ne batandikawo ebibiina by’obufuzi ebimuvuganya.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });