YINGINIYA abadde yaakatikkirwa mu Yunivasite e Makerere Degree era nga yaakafuna omulimu omusava emmotoka emutomedde n’afiirawo ku luguudo lwa Northern Bypass.
Farouk Kabandana (27) abadde asula e Naalya. Baamutomedde ku ssaawa 12:00 ez’okumakya bwe yabadde akedde okugenda okukola.
Kyokka abamu ku mikwano gye batankana akabenje kano, balowooza nti abatemu bayinza okuba nga be baamusse ne balyoka basuula omulambo gwe ku luguudo olwo mmotoka ne zimubetenta.
Tekyategeerekese oba Yinginiya ono mu kiseera we yafunidde akabenje kano yabadde ku pikipiki oba yabadde atambuza bigere, ekyaleeseewo okukubagana emapaawa nga abamu bagamba alabika yabadde atambuza bigere olwokuba mu kifo poliisi we yasanze omulambo tewali kintu kyonna kyabadde kiraga nti omugenzi yabadde ku pikipiki.
Kiteeberezebwa nti mu kiseera akabenje kano we kaagwiriddewo obudde bwabadde bukyazibye nga ku kkubo tekuli bantu ekyaletedde emmotoka endala ezabadde zitambula okumugoya nga mu kiseera poliisi y’e Namugongo we yatuukiddewo ng’omulambo tegutegeerekeka gwonna gugoyaagoyeddwa.
Poliisi y’e Namugongo yagenze yagguddewo fayiro kw’egenda okwesigamya okunoonyereza kwayo ku mmotoka eyakoze akabenje kano nga guno guli ku fayiro nnamba TAR 80 /2023 ku poliisi y’e Kira e Namugongo.
Abafamire abafamire ya Yinginiya ono olwabadde okutuuka ku ggwanika okukakasa amawulire g’okufa kw’omuntu waabwe basoose ku kalubirirwa olw’embeera omulambo gye gwabaddemu ng’omutwe gwonna gubetentuse nga kizibu okutegeera omuntu eyafunye akabenje, omubiri gwasesebbuse era okumukakasa abakozi ku ggwanika baamaze kupanga okugulu okumu ku kunnaakwo abooluganda ne beetegereza enjala n’ebigere kwe kukakasa nti ddala omuntu eyabadde afudde ye waabwe Ying. Farouk Kabandana.