Amawulire

Kabaka wa Buganda akomyewo okuva e Germany.

Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II yakomyewo okuva mu Bulaaya era asuubirwa okulabikako eri Obuganda nga April 16, 2023 bw’anaaba asimbula emisinde gy’amazaalibwa ge eg’omulundi ogw’ekkumi mu Lubiri e Mmengo mu Kampala.

Mmengo ng’eyita mu Minisita akolanga ow’amawulire mu kiseera kino, Joseph Kawuki yategeezezza nti Omutanda yakomyewo mirembe okuva e Bulaaya gye yagenda.

“Ssaabasajja Kabaka yakomyewo okuva ebweru ku Lwomukaaga nga March 25, 2023 era nga yatambulidde mu nnyonyi ya Emirates n’atuuka bulungi e Ntebe,” Kawuki bwe yategeezezza.

Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga yategeeza Obuganda nga March 4, 2023 nga Kabaka bw’ataasobola kwetaba ku fayinolo y’emipiira gy’amasaza wakati wa Busiro ne Buddu olw’okuba yali afulumye eggwanga nga February 22, 2023 okugenda e Bulaaya ku mirimu emitongole nga gino gizingiramu n’okulaba ku basawo be abakugu abeekebejja embeera y’obulamu bwe.

Katikkiro Mayiga era yategeeza Obuganda gye buvuddeko nga Kabaka bw’atawaanyizibwa obulwadde bwa alajje ng’era abasawo bano abakugu baafunibwa mu Germany nga bano omulimu bagukola n’abakugu baawano e Uganda.

Abaalabye ku Kabaka baategeezezza nga bwe yakomyewo ng’aliko akamwenyumwenyu era ng’atambuza maanyi.

Kabaka yasemba okulabikako mu lujjudde bwe yali aggulirawo Obuganda omwaka 2023 nga December 31, 2022 mu Lubiri kyokka yeetaba ne ku mbaga y’okujaguza okubatizibwa kw’Omumbejja Elizabeth Mpologoma, ng’ono muwala w’Omulangira Kintu Wasajja nga January 28, 2023 mu Lubiri e Mmengo. Omukolo guno gwali gwa balondemu.

Ng’oggyeeko obutalabikako ku fayinolo z’Amasaza, Kabaka era teyalabikako ku fayinolo z’ebika by’Abaganda eyali wakati w’Endiga n’Olugave. Endiga yawangula ne ggoolo 1-0 n’esitukira mu ngabo.

Kabaka era teyalabiseeko ku mukolo Nnaabagereka bwe yabadde atongoleza ekitabo kye ekya The Nnaabagereka ogwabadde ku Sheraton Hotel nga March 23, 2023.

Minisita Kawuki yayongedde n’akunga abantu okugula emijoozi gy’emisinde gy’Amazaalibwa ga Kabaka basobole okumwota obuliro ng’asimbula abaddusi.

Emisinde gy’omwaka guno gyakuddukibwa wansi w’omulamwa ogugamba nti “Abaami tubeere basaale mu kulwanyisa mukenenya tutaase omwana ow’obuwala era amalibwewo omwaka 2030 we gunaatuukira”.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });