Amawulire

Abakung’aanya omusaayi baagala minisitule y’ebyobulamu eyongere amaanyi mukusomesa abantu.

Abali ku mulimu gw’okukung’aanya omusaayi mu bitundu bya Buganda eby’enjawulo baagala Minisitule y’ebyobulamu eyongere amaanyi mukusomesa abantu ku bikwata ku musaayi n’obulungi obuli mukugugaba.

Bino byogeddwa ssenkulu w’ekitongole kya Beene ki Kabaka Foundation bw’abadde akuliddemu okusomesa abaami ba Kabaka  ne bannaddiini e Mawogola ku nsonga ezikwata ku kugaba omusaayi.

Omuk. Kaggwa Ndagala agamba wakyaliwo bingi abantu byebatanaba kutegeera ku nkola y’okugaba omusaayi nga beetaaga okubangulwa.

Kinajjukirwa nti Wiiki ewedde ekitongole ki Kabaka Foundation , Red Cross wamu ne Blood Bank bamaliriza enteekateeka ey’okunganya omusaayi mu Ssaza Busujju nga entekateka eno yamalira ddala ennaku musanvu.

Ye Supreme  Kadhi w’e Ssembabule, Sheikh Nuhu Lubira Sserunjogi asinzidde mu musomo guno neyeebaza Obwakabaka olw’ enteekateeka eno nasaba abeetabye mu musomo guno okutambuza obubaka ku kugaba omusaayi.

Omwami wa Kabaka atwala essaza Mawogola, Muteesa Muhammad Sserwadda agamba nti nga banna Mawogola bagenda kukungaanya omusayi okuva mubuli nsonda ye era balina essuubi okuwangula ekirabo ekyateekebwawo.

Ate Akulira Blood Bank mu ttundutundu lya Masaka, Paul Akankwasa nga y’ omu ku babangudde abantu annyonnyodde nti bakukola buli kimu okwongera okumanyisa abantu ku nsonga z’okugaba omusaayi.

Okusinziira ku bakulu mu ssaza lino awamu n’abateesiteesi b’ enteekateeka eno, okugaba omusaayi kutandika 14 November era kwakutambuzibwa mu ggombolola ez’enjawulo ezikola essaza lino.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top