Abakyala be’Luzira baweereddwa obujjanjabi n’ebikozesebwa eby’obwereere ne balabulwa okukomya okusirikiranga endwadde.
Obujjanjabi buno bwabasakiddwa omubaka wa Nakawa East mu palamenti , Ronald Balimwezo ng’ayita mu kibiina kya Balimwezo Community Foundation nga mubadde okukebere endwadde ez,enjawulo n’okubawa ebikozesebwa ng’osiisira luno lwategekeddwa e Luzira mu makomera .
Balimwezo yategeezezza nga bwebalina eddwaaliro mu kitundu kino kyokka nga libulamu ebikozesebwa ekiteeka obulamu bw’abalwadde mu katyabaga n’asaba gavumenti eyongere ku bikozesebwa mu malwaliro gaayo.
Joy Niwomujuni akulira eby’obujjanjabi ku ddwaaliro lya Murchson Bay mu kkomera e Luzira asiimye olw’okubakwatirako n’obujjanjabi buno.