Ebyobufuzi

Abanene America Beyesimbyemu Batuuyana

Abanene America Beyesimbyemu Batuuyana

ABANENE omuli bannamagye abookuntiko nabakungu ba Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Tibuhabulwa Museveni eggwanga Lya America beryesimbyemu omwaka baguyingidde gubatujjira nyuma era waliwo abatuula obufoofo okulaba engeri embeera eno bwesobola okumulungulwa mu mirembe.

Kino kudiridde America okussa natti ku  akulira ekitongole kyabambega b’amagye ekya CMI

Maj. Gen. Abel Kandiho, obutaddamu kukirizibwa kulinya ku ttaka lya America oba okukolagana namawanga gonna agalina enkolagana ne America mungeri yonna wamu n’abantube era bebyobugaggabwe ne biteekebwako envumbo mu mawanga ago bwebibeerayo.

Natti zino ezalangiriddwa mu December womwaka gwa 2021 ogugwako gwagasse Kandiho ku bannamagye abalala abateekebwako dda natti nga Gen Kale Kayihura nabalala kyokka waliwo ne bannamagye abalala nabakungu ba Gavumenti abalobdoolwa oluvanyuma lwa bannamateeka abalwanirira eddembe lyobuntu, aba opozisoni n’abantu babulijjo okubalonkoma eri America nayo erudde ngerondoola ensonga nga bwezitambula mu ggwanga lino.

Gyebuvuddeko omukokozi mu State House nga Kati ali ku ddaala lyomuwabuzi wa Pulezidenti Museveni mu byamawulire yalagudde nti Bannayuganda abasoba mu 50 beebateekeddwa mu tageti ya America nti essaawa yonna kyedomola.

Bano abasinga balangibwa kukozesa lyanyi nokunyigiriza nokutulugunya abantu babulijjo okusobola okukuumira Gavumenti ya NRM mu buyinza era kigambibwa nti  baliko nemirambo ku mitwe gyabwe omuli abantu abasoba mu 100 abattibwa e Kasese mu bulumbaganyi bwolubiri lwomusinga wa Rwenzuluulu, Wesley Mumbeere, abalala abazze batibwa  mu kulonda nokwekalakaasa okuzze kubeera mu Uganda ngokuwakanya omusolo gwa social media okwakulemberwa Hon Bobi Wine,ebyokukuba ababaka mu kugyawo ekkomo ku myaka gya Pulezidenti, ebyokukwata Bobi Wine mu kampeyini n’abantu abalala abakwatiddwa oba okutibwa nabatulugunyizibwa mu makomera.

Kyokka abalala balangibwa bulyake  nakukozesa bubi mateeka ngomulamuzi eyawummula Mukiibi ne banne eyakaligibwa olwokusalirizs mu musango gwokuwaayo omwana okuva mu Bazadde be mu Uganda namugemulira abazingu.

Ye eyali minisita wensonga ezebweru Sam Kuteesa ensongaze zeekuusa ku Diiru eyalimu doola za America ezisoba mu mitwalo 50 ezigambibwa okuyisibwa ku akawunta gyalinako enkizo ng’ate abaziyisaako emisango gyabakka muvvi mu America.

Ensonda zaategeezezza nti wadde omwogezi wamagye Brig. Flavia Byekwaso, yategeezezza nti ekya America okukaliga Kandiho kyayisiddwa mukamooli ne Kandiho nategeeza nti America emala byamubulago nti ye siwabyabufuzi era simusuubuzi oba alina ebyobugagga e Bulaaya, waliwo ebigambibwa nti natti zaamubobbezza omutwe.

Ye Kayihura ekyasooka okukaligibwa kigambibwa nti embeera yebyenfuna ye yasereba kubanga abamu ku Bantu be omuli nabokulusegere baali bawangaalira mu Bulaaya .

Ono yatuuka nokulajana era napangisa ne bapuliida bagezeeko okulwanyisa embeera eno.

Waliwo ebyogerwa nti abamu ku bateekeddwa mu tageti batidde bbo n’abantu babwe omuli nabaana okugobwa mu Bulaaya ne ssente zebalinayo okubafa.

Ennaku ezo kigambibwa nti waliwo munnamagye owamaanyi eyabadde ava e Somalia ngakomawo e Kampala eyabuzeeko akatono okukubwa puleesa ennyonyi kweyabadde bwe yaguddeko e Nairobi ekya Kenya kye y’abadde tasoose kutegeezebwa nalowooza nti lubaze era omutima gwamuzeemu ennyonyi emaze kusitukawo okwolekera Ntebe.

Ssentebewakakiiko kensonga zebweru mu America, Eliot Engel azze asaba eggwangalye okulondoola nokukaliga abebyokwerinda mu Uganda balumiriza nti beebali emabega wokulinyirira eddembe lyobuntu kyokka bano babiwakanya nti tebalina musango gwonna.

Abamu ku banene abayinza okulugwamu essaawa yonna kuliko Lt. Gen. Peter Elwelu eyaduumira okulumba e Kasese  mu 2016 ngakati  yakuzibwa muwandiisi wamagye, , Maj. Gen. James Birungi, yaduumira ekibinja ekikuuma pulezidenti ekya Special Forces Command, Maj. Gen. Don William Nabasa, eyakulirako  Special Forces Command, Maj. , Maj. Gen. Steven Sabiiti Muzeyi eyamyukako ssaabadduumizi wa poliisi, Frank Mwesigwa, ng’ono Munene mu poliisi,   Col. Chris Serunjogi Ddamulira, owa   Crime Intelligence nabalala.

Bano eyali minisita wensonga za America ezebweru Mike Pompeo, Kati eyasikizibwa Antony J. Blinken yeeyaleka abeesimbyemu.

Kyokka abakulu bano bazze bategeeza nti America ebalemerako mu bukyamu bakola mirimu gyabwe okuwereza eggwanga nokukuuma emirembe .

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top