Minisitule y’ebyobulamu ekakasizza nga abantu 7 nga bonna bava mu nju emu bwebasangiddwamu ekirwadde kya Ebola.
Okusinziira ku minisita w’ebyobulamu, Dr. Jane Ruth Aceng bano bebamu ku bantu omwenda abalangiriddwa okuzuulibwamu ekirwadde kya Ebola mu Kampala n’emirilaano.
“ Abantu bano omwenda bavudde Kassanda nga bali bubi nebatwalibwa e Mulago. Abooluganda bano 7 bonna be Masanafu era nga kuliko n’omusawo abadde addukanya akalwaliro e Ssegukua awamu nemukyala we,” Aceng bweyalambudde.
Aceng yannyonnyodde nti abantu abawera 14 bebazuuliddwamu ekirwadde kino mu nnaku ebiri eziyise. Kati omuwendo gwabalina ekirwadde kino mu ggwanga lyonna 84 ate abaakafa bali 28.
Dr. Aceng asabye bannayuganda okusigala nga bali bulindaala nasaba abo ababaddeko n’abantu abalina ekirwadde kino okwetwala mu basawo okusobola okumalawo ekirwadde kino.
Bino webijjidde nga Pulezidenti Yoweri Museveni yateeka disitulikiti ye Mubende ne Kassanda ku muggalo okumala ennaku 21 okusobola okulwanyisa ekirwadde kino.
Pulezidenti Museveni yategeeza nti abantu mu kitundu kino wadde nga abamu balabye ku bubonero naye bakozesa takisi ne booda booda nebongera okusaasaanya ekirwadde kino.
Okusinziira ku Museveni, abakwatiddwa ekirwadde kino babadde baddukira mu basawo b’ekinnansi nebongera okutambuza ekirwadde kino kuba gyebagenda tebalina bukugu.