Amawulire

Kitalo! Mutabani wa Hajji Nadduli asangiddwa nga afudde.

Mutabani wa munnansiko era munnakibiina ki NRM Hajji Abdul Naddul, Suleiman Jakana Nadduli asangiddwa nga afiiridde mu makaage enkya ya leero.

Ebiriwo biraga nti Jakana bamusanze nkya ya leero nga mufu era nga kirowoozebwa nti ono yafudde mu makya.

Ssaabawandiisi w’ ekibiina ki National Unity Platform (NUP), Lewis Rubongoya ategeezezza nti kino kizibu okukkiriza kuba yamulizaako ku Lwomukaaga nga ali bulungi.

“Aba famire bagamba nti bamusanze mu makaage nga afudde, ennaku ntono nga amaze okuyimbulwa okuva mu kkomera. Nayogera naye ku Lwomukaaga nga ali bulungi,” Rubongoya bw’ategeezezza nga ayita ku mukutu gwe ogwa Twitter.

Ekituufu ku nfa ya Jakana tekinamanyika wakati nga bingi biyitingana naye tujja kutuusaako mu bwangu ebyo abasawo byebanaaba bazudde oluvannyuma lw’okukebera omulambo.

Jakana abadde amanyiddwa nnyo olw’okwogera nga taluma mu bigambo era kino kyekyamutwaza mu kkooti navunaanibwa omusango gw’okusiga obukyaayi n’okwawulayawula mu bantu.

Nga tanakwatibwa yasooka namala ennaku eziwerako nga awambiddwa ab’ebyokwerinda wadde oluvannyuma poliisi yategeeza nga bweyali akwatiddwa.

Omwogezi wa poliisi, Fred Enanga yategeeza nga Jakana bweyali amaze okusimbibwa mu kkooti era nakkiriza omusango gw’okusiga obukaayi ekikontana ne tteeka lya Penal Code akawaayiro nnamba 41 era bwatyo nasindikibwa ku alimanda mu kkomera lye Butuntumula.

Wabula bweyadda mu kkooti yegaana emisango gino era bwatyo nayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });