Amawulire

Abantu 10 bebasimattuse okuffira mu nnyanja Nalubaale , ebintu ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde byasanyeewo.

Abantu 10 bawonye okufiira mu nnyanja Nalubaale oluvannyuma lw’ekinaala ekibadde kibasaabaza okubaggya e Kasenyi okudda e Kisaba mu Kalangala okukubwa omuyaga ne kibbira mu nnyanja Nalubaale.

Abawonye kuliko; Badru Hamba, John Bogere , Payire, Emannuel, Mugoowa, Dorah, Kalema Swaibu, Wandera Ivan, ababadde basigadde ku lyato lino oluvanyuma lw’abalala okuviiraako mu myalo egy’enjawulo.

Yo emmaali okuli; obuwunga, sukaali, ebyokunywa, n’ebyokulya ebibalirirwaamu obukadde n’obukadde bitokomokedde mu lyato lino.

Kigambibwa nti yingini y’eryato lino yalidde obutimba nga baakasimbula mu mwalo gw’e Lukuba okudda e Kisaba ate ng’ embuyaga yabadde y’amaanyi wabula ababadde ku lyato lino balibuuseemu olw’okuba nti lyabadde lisemberedde olubalama.

Badru Hamba omugoba w’eryato lino agamba nti lyabadde lisigaddeko abantu 10 weryafunidde akabenje wabula nga tewali yafudde wadde eryato lyabbidde.

Omwogezi wa poliisi mu bendobendo ly’e Masaka, Ssaalongo Muhammad Nsubuga akakasizza okugwaamu kw’eryato lino wabula n’ategeeza nti abantu bonna abalibaddeko balamu.

Nsubuga alabudde abatikka amaato akabindo kyokka nga tebambadde ‘life jacket’ naddala mu kiseera kino ng’ empewo n’enkuba by’amaanyi nnyo ku nnyanja Nalubaale.

 

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top