Amawulire

Abayizi abalenzi bangi tebalabiseeko kukola bigezo bya P.L.E e Buyende.

 

Olunaku olwegulo abayizi ba P7 lwebaatandise okukola ebigezo byabwe ebyakamalirizo byebagenda okufundikira olunaku lwaleero.

Okutwalizza awamu ebigezo byatandise bulungi nga okwetoloola eggwanga lyonna tewabadde kutataganyizibwa mungeri emu oba endala.

Abayizi eguro bakoze ssomo lya kubala ne SST ne ddiini ate olunaku lwenkya bakukola olungereza ne sayansi

Wabula mu disitulikiti ye buyende, Omuwendo gwa baana abalenzi abatalabiseko kukola bigezo byabwe ebyakamalirizo ebya PLE gwelalikiriza abobuyinza.

Okusinzira kwakulira ebyenjigiriza mu disitulikiti eno, Dison Bwire , beewunyiza okulaba nti bulijjo abaana abawala bebabadde balemererwa okukola ebigezo byabwe naye ku luno omuwendo gwa balenzi abataze kuwandiika bigezo byabwe gubadde muyitirivu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top