Amawulire

Ofiisi etabudde Ssemujju ne Nsibambi.

Obutakkaanya bwa Ibrahim Ssemujju Nganda (Kira) ne Yusuf Nsibambi (Mawokota South) buzzeemu nga ku mulundi guno busibuse ku alina okutuula mu ofiisi y’akulira ababaka ba FDC ku Palamenti.

Ssemujju ne Nsibambi baasooka okutabuka oluvannyuma lwa Ssaabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi okuwandiikira Sipiika ebbaluwa nga August 7, 2023. Ebbaluwa yali ekyusa Ssemujju ku bwa Nnampala wa FDC nga bamusikizza Nsibambi.

Kyokka kino Sipiika Anita Among yakigaana n’ategeeza nti ayagala basooke bamuwe obukakafu obukakasa nti emitendera gy’ekibiina gyonna gyagobererwa mu kukyusa Ssemujju kuba yali afunye okwemulugunya okuva mu babaka ba FDC abamu.

Ttabamiruka wa FDC eyatuula mu October yaddamu n’akakasa eky’okukyusa Ssemujju ne bamusikiza Nsibambi.

Nga October 10, 2023 omumyuka wa Sipiika Thomas Tayebwa yategeeza Palamenti nga mukama we Among bwe yali akakasizza enkyukakyuka za FDC mwe baalondera Nsibambi.

Kyokka okuva olwo, Nsibambi agamba akoze buli ekisoboka okuyingira ofiisi kyokka Ssemujju n’agiremeramu wadde nga yategeeza abakulu bonna abakwatibwako.

“Ekyewuunyisa Ssemujju n’akapande ka nnampala wa FDC yakaggya ku mulyango naye ofiisi n’atagifuluma ekiraga nti alina ekiruubirirwa kya kugisigalamu. Mu kiseera kino sirina Ofiisi ntongole kuba gye nnalina ng’omubaka nnagiwaayo,” Nsibambi bwe yagambye.

Nsibambi yagambye nti ensonga yazitwala ew’omuwandiisi omukulu owa Palamenti ng’ayagala bamukwase Ofiisi. Kye baasembye okumugamba kwe kuba nti ensonga ze akulira eby’okwerinda ku Palamenti (Sergeant at Arms) azikolako. Naye tamanyi lunaku lutuufu lw’anaayingira Ofiisi ye mwe baamulondera.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top