Amawulire

Akayimba ka Carol Nantongo akapya ke yatuumye ‘Nyiga Wano’

Akayimba yakatuumye “Nyiga Wano”nga kaawandikiddwa Jimy Bato ate ne kakolebwa pulodyusa Nessim.

Mu kayimba kano, Carol Nantongo awaana omulenzi we n’ebigambo ebirungi ng’alaga nti talina we yakyama. Amusaba obuteemanyiiza bakyala balala beeyagale bokka mu laavu ey’ekimmemmette bakole n’embaga.

 

Oluyimba luno terunnaweza wadde omwezi naye kumpi buli leediyo mu Uganda erukuba era nga ne ku mikutu gya yintaneeti buli w’obikkula abaana baalukozeemu buvidiyo.

Kkolaasi y’oluyimba egamba nti,

“Nyiga wano nyiga wano, bbebi nyiga wano, leero luno nsula eyo, tondeka wano, nyiga wano nyiga wano bbebi nyiga wano leero luno, gira tuve wano tondeka wano”

Nantongo yakuyimbira ennyimba nnyingi okuli; Kamese Tmabula, Nakusiima, Oliwa, Gira Tukiggale n’endala nnyingi ezaakwata Bannayuganda omubabiro.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top