Amawulire

Omuvuzi wa mmotoka z’empaka ali ku gwa kutta muganzi we.

Omukyala kafulu mu kuvuga mmotoka z’empaka e Kenya, Maxine Wahome ali mu kattu oluvannyuma lw’ebigambibwa nti yakuba muganzi we Asad Khan ne ddereeva w’ezempaka n’afiira mu ddwaaliro e Nairobi.

Kigambibwa nti mu December w’omwaka oguwedde ababiri bano baafuna obutakkaanya nga bali mu maka gaabwe mu kibuga Nairobi ne balwana, Khan 50, n’afuna obuvune obw’amaanyi obwamuviiriddeko okufiira mu Avenue Hospital.

Okufa kwa Khan kwakakasibwa omu ku baganda be ‘Adil’ nga December 18 okusinziira ku mukutu gw’amawulire Nation Sport mu Kenya. “Wahome yayisa bubi muganda wange kati omugenzi bwe yafuna ebisago n’avaamu omusaayi mungi, abadde assiza ku byuma okutuusa lwe yafudde,” Adil bwe yategeeza Nation Sport.

Maxine Wahome

Poliisi yakwata Wahome 26, n’aggalirwa wabula oluvannyuma yateebwa ku kakalu ka mitwalo gya Kenya 10 nga December 14.

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde, Wahome yalabiseeko mu maaso g’omulamuzi Bernad Ochoi ku nsonga z’okutulugunya muganzi we, wabula oluvannyuma lw’obujulizi okutuuka mu kkooti eyo nti Khan yamala n’afa, omulamuzi yasabye ennaku 14 omuwaabi wa Gavumenti anoonyereze ku musango gw’okutta omuntu ogulabika okukyukira Wahome.

Wahome yeegaana emisango gyonna wabula omulamuzi Ochoi yamulagidde yeeyanjulenga ku poliisi n’akakiiko akanoonyereza ku musango guno buli luvannyuma lwa wiiki okutuusa kkooti ng’ekoze okusalawo okw’enkomeredde.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top