Amawulire

Ambasada wa Amerika mu Uganda asabye abaliko obulemu okuwebwa omukisa okwolesa ebitone byabwe.

Ambasada wa Amerika mu Uganda, Natalie E Brown asabye Bannayuganda abakolera mu kisaawe ky’ebyamasanyu okweyongera okussaawo embeera esobozesa abantu abalina obulemu okwetaba mu bintu ng’okuyimba n’okuzannya firimu.

Yagambye nti emirundi mungi abantu abalina obulemu batunuulirwa ng’atabaliko kye basobola kukola songa balina obusobozi, oluusi ekibaleetera okugwamu essuubi n’okwekkiririzaamu.

Okwogera bino yabadde mu kutongoza firimu ya “When You Become me” eyazannyiddwa abantu abaliko obulemu, ng’omukolo guno gwabadde ku Arena Mall e Nsambya.

Yategeezezza nti musanyufu okulaba nti kino kyakoleddwa nti era eno esaanye okubeera entandikwa y’okukkiririza mu bantu abo era n’okubateerawo embeera, abalala bakirabe nti nabo basobola okubaako kye bakola.

Irene Kaggwa akulira ekitongole kya Uganda Communications Commision (UCC) yeebaziza aba Reach a Hand ababadde emabega w’okulaba nga firimu eno ezannyibwa era n’ategeeza nti ekitongole ky’atwala kikkiririza mu bantu abalina obulemu.
Yagambye nti batandikawo enteekateeka y’okulaba nga basomesa abantu b’ekikula ekyo tekinologiya era nti n’ebitundu gye bava abantu baayo basaanidde okubayambangako okukuza ebitone byabwe.

Firimu eyo yakoleddwa Mathew Nabwiso ne mukyala we  Eleanor Nabwiso wamu ne Reach a Hand.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top