Amawulire

Asobezza Ku’Wemyaka 12 Namutuga Naye Abatuuze Bamusse

Asobezza Ku'Wemyaka 12 Namutuga Naye Abatuuze Bamusse
Abatuuze ababadde abakambwe okukira ensweera enkubeko bakkakkanye ku muvubuka eyasobezza ku mwannyina namala namutuga namuziika mu kinnya kya kaabuyonjo ebadde esimibwa, entiisa eno ebadde ku kyaalo Kapereyi mu ggombolola ye Opwateta mu district ye Pallisa.

Kibale Michael 29 yeyattiddwa abatuuze nga bamulumiriza okusobya ku mwannyina Lokole Catherine 12 oluvannyuma na mutuga namuziika mu kinnya kya kaabuyonjo ebadde esimibwa, Okaranga Lawrance kitaawe wo muwala omugenzi yagambye nti muwalawe abadde amaze n’okumugulira ebintu okumutegekera okudda ku ssomero, nga amaze no kumusasulira ebisale bye ssomero nga abadde alinze kudda ku ssomero nga 10 Jan 22 naye yawunikiridde nga mwannyina mwennyini ate ya mukkidde namutuga ate nga amaze ku mukolako bya nsonyi.

Ssentebe we kyaalo Okoire Julius agambye nti Kibale Michael abadde akozesa ebitamiiza nga kigambibwa nti bye bimusindikirizza okukola kino.

Omwogezi wa poliisi mu Bukedi North ASP Immaculate Alaso yategeezezza nti ttiimu ya poliisi eya ba mbega yazudde nga omugenzi yaziikuddwa mu kinnya kya kaabuyonjo ebadde esimibwa nga yatugiddwa nga omutemu yeyambisizza hafupeti oluvannyuma lwo ku kumusobyaako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top