Poliisi e Kanungu eyiga Edward Birungi 40, omutuuze w’e Kagarama mu muluka gw’e Nyarutojo mu Ggombolola , bitegerezebwa bti yasse abaana babiri okuli Tracy Nabasa 8, ne Ian owembabazi 3, ng’abalanga kitabwe Frank Kato okukakana ku makazi namwagala.
OKusinziira ku mwogezi wa poliisi mu bitunduy by’e Kigezi Elly Matte yategezezza nti ku saawa kumi akawungezi ssentebe w’e kyalo Kagarama Augustine Mutabazi yategezezza nti abaana babibiri batiddwa mu liranwa wqabwe n’galanga kitabwe okubeera n’enkolagana ne mukazi we eyekyama .
Edward Birungi kigambibwa nti yakutte ejambiya nalumba abaana mu makaga gabwe gyeyabasanze nga bali bokka nga kitabwe Frank Kato taliiwo ng’ali munnimiro , ono yagobaganye n’abaana bano okutuusa weyabatemetemye n’abatta. poliisi yatuuse mu kifo ewabade ettemu negyawo emirambo gy’abagenzi mnegitwalibwa mu ggwanika ly’e ddwaliro Kambuga okwekebegyebwa kyokka omutemu olwamaze okukola bino nadduka era kati abartuuze nga bali ne poliisi bamuiyaga.
omusango guli ku poliisi y a kanungu ku fayiro nnamba CRB /110/2022.