Ebyobufuzi

Avuganya ku bwapulezidenti abeere wa ddiguli, Sarah Opendi

Omubaka omukyala owa disitulikiti ye Tororo, Sarah Opendi aliko ekiteeso kyaleeta mu Palamenti nga ayagala ebisaanyizo by’abantu abeesimbawo ku bwapulezidenti birinyisibwe okuva ku Ssiniya ey’omukaaga bidde ku Ddiguli.

Omubaka Opendi era ayagala  ebitundu 40 ku buli 100 eby’ebifo ebirondebwa birekebwe nga bya bakyala okusobola okuteekawo obwenkanya mu bifo by’obukulembeze.

“ Wadde wabaddewo kaweefube w’okusitula embeera z’abakyala basobole okwenyigira mu bukulembeze awamu n’okutwala ebifo ebisalawo naye Uganda tenateekawo bwenkanya nga bweyeyama mu ndagaano ya Beijing Declaration and Platform for Action,” Opendi bweyategeezezza nga aleeta ekiteeso.

Opendi ayagala ennyingo ya Ssemateeka nnamba 78 ekolwemu enkyukakyuka ebitundu 40 ku buli kimu  mu Palamenti bigende butereevu eri abakyala.

Ono era ayagala ennyingo 102 eya Ssemateeka nayo ekwatibweko, omuntu yenna atalina Ddiguli aleme kwesimbawo ku bubaka bwa Palamenti oba obwapulezidenti.

Kati Sipiika Anita Among ekiteeso kino akisindise kitwalibwe mu Minisitule y’ ekitongole ekiramuzi awamu ne Ssemateeka zibeere ezimu ku zigenda okuleetebwa akakiiko akeekeneenya enoongosereza za Ssemateeka aka  Constitution Review Commission.

Kinajjukirwa nti  Palamenti yawa eyali akolanga Minisita w’ebyamateeka,  Muruli Mukasa okulonda akakiiko kano naye mu kiseera kyekimu Ssenkaggale wa DP, Norbert Mao nalondebwa era guno gwegumu ku mirimu gyagenda okutandikirako.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top