Ebyobufuzi

Ba Faaza balabudde Ssemwogerere okwegendereza entalo z’ebyobufuzi

Ba Faaza balabudde Ssemwogerere okwegendereza entalo z'ebyobufuzi

*Bamulabudde ku katwa ne bamaafiya abeesoma okumulwanyisa. EKLEZIA yalangiridde ng’ennaku z’omwezi 25/1/2022, Ssaabasumba Paul Ssemwogerere lwagenda okutuuzibwa ku ntebe mu butongole.

Wabula ba faaza abakuze mu myaka mu ssaza ekkulu erya Kampala bavuddeyo nebamuwabula nti tatikiza ne ba faaza abato bokka nga mukuluwe Arch. Bp. Dr. Lwanga bwabadde akola.

Bano bagamba nti omugenzi yalina kyekubiira ku ba faaza abavubuka nga bateeka mu bifo eby’amaanyi bokka olwo abakuze mu myaka n’abaleka awo nga tabakkiririzaamu.

Mu bukulembeze bwa ssaabasumba Lwanga weyafiira yali akyusizza eyali omwogezi w’essaza. Fr. Joseph Mukasa Nkeera ng’amututte Gaba mu sseminaaliyo n’amusikiza Fr. Nicholas Mulumba eyali yaakafuna obwa faaza oluvannyuma lw’okumaliriza emisomo e Makerere.

Mu lutalo olwaviirako bishop Jacinto Kibuuka okuva mu eklezia katulika ne yeegatta ku nzikiriza ya Evangelical Othodox Church, Ssaabasumba Lwanga yasooka kwagala kusiguukulula Msgr. Expedito Magembe, ng’ayagala ave ku Mt. Zion prayer center e Bukalango, ng’ayagala okuteekayo Fr. Jacinto Kibuuka eyali akyali omuvubuka, kyokka Msgr. Magembe ng’aliwamu ne Faaza Atenusius Musajjakawa ne John Bosco Mukajanga baalemesa Kibuuka okubeera e Bukalango era wano eby’omuwala Nantongo webyayingiriramu.

Ssaabasumba era yagenda okufa ng’eyali omuwandiisi omukulu ow’esazza ekkulu erya Kampala Fr. Mark Ssajjabbi, ng’amukyusizza, ekifo kye n’akiteekamu ba Faaza abavubuka omuli Faaza Pius Male ono ng’amyukibwa eyali  omuyambi we ow’ekyama era omuvubuka Fr. Richard Mwebe.

Ba Faaza bano bategeezezza SSEKANOLYA nti, essaza ekkulu ery’e Kampala omusumba Ssemwogerere mwagenda okutuuzibwa, mwe musibuka eby’obufuzi by’eggwanga ne Bannabyabufuzi okuva mu bibiina eby’enjawulo, kale omusumba Ssemwogerere alina okwegendereza ate n’obutenyigira nnyo mu byabufuzi kyokka ate ng’alina okubeera ekiddukiro kyabuli muntu ate n’okulwanirira abo ababeera batulugunyizibwa mu mbeera ez’enjawulo.

Omusumba Ssemwogerere alina olusozi okugatta ba faaza n’okuzza ba faaza abaali bewaggulidde mu nsi z’ebweru era nga tebakkiririza mu bukulembeze bw’omugenzi ssaabasumba Kizito Lwanga.

Bano era bamulabudde ku bamafiya abali mu eklezia ne mu gavumenti abayinza okumulemesa nga Ssabasumba Lwanga bwe yalajananga nti baali bamulondoola era nga waliwo ne bambega gavumenti beyali emutaddeko okumubega.

Faaza Nicholas Mulumba okuva e Lubaga yategeezezza SSEKANOLYA nti, buli musumba alina enkola ye nga n’abakulembeze mu mawanga bwe babeera, kati ssaabasumba Lwanga yalina nnyo obwesige mu ba faaza abavubuka naddala abo be yali yawa obwa faaza, era yatuuka okufa ng’abasinga be ba bwanamukulu ate abalala nga be bakulembera ebitongole ebyamaanyi mu ssaza, ekintu ba faaza abamu kye batakkiririzaamu, nga kati balinze kulaba nkola ya Ssaabasumba Ssemwogere gy’agenda okukolamu emirimu gye n’engeri gy’agenda okukwatamu ba faaza.

Ono era yategezezza nti, “engeri gye manyiimu bishop Ssemwogerere, musuubira obutagoberera nkola ya Ssaabasumba Cyprian Kizito Lwanga ey’okwesiga ennyo ba faaza abavubuka ate ffe ba faaza abakuze mu myaka ne tuyisibwa mu mbeera embi awamu n’okulaga nti tetukyalina magezi n’omugaso eri enkulaakulana y’esazza ekkulu ery’e Kampala, bw’anaakikola ba faaza bangi bajja kumusibira ekikokolo n’ekigendererwa ekyokumulemesa obuweereza obulungi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top