Ebyobufuzi

Baabano ba pulezidenti 6 abagala okufiira mu Ntebe z’a mawanga gabwe

Baabano ba pulezidenti 6 abagala okufiira mu Ntebe z'a mawanga gabwe

TEODORE OBIANG o NGUEMA  , Ono ye pulezidenti wa Equetorial Guine yakakulembera eggwanga lino emyaka 41  nga okuwamba obuyinza yabubba ku kkojja we n’okutuuka kati agamba akyalina bingi byatanaba kutereza mu ggwanga lye.

PAUL BBIYA, Pulezidenti wa Cameroon alina emyaka 85, era yasinga obukadde mu bapulezidenti  yagya mu ntebe mu 1982.

DENIS SAUSSOU, Yakakulembera Congo Brazaville emyaka  36 , yasooka nakulembera  mu 1979 okutuuka mu 192 , ate nakomawo mu 1997 oluvannyuma lw’olutalo  mu 2016 nakomawo naddamu nalondebwa mu ntebe.

YOWERI KAGUTA MUSEVENI TIBUHABURWA, ono yakakulembera Uganda emyaka 36 yasooka kuwamba  ntebe mu 1986  naye emirundi gyoona gyazze yeyongera okukulembera Uganda azze ayita mu Kalulu kyokka waliwo okutya nti tewali kabonero konna kalaga nti ayagala kuwummula ntebe kubanga waliwo ne ddiiru egambibwa nti ayagala kuyita mu palameti yebeera eronda nga pulezidenti okutandika mu kalulu akaddako mu 2026.

IDRIS DERBY , pulezidenti wa Chad ono yakamala emyaka 30 ng’ayafuga eggwanga lya Chad .

ISAIAS AFWERKI , Ono yakulembera eggwanga lya Eritrea yatandika okukulembera eggwanga lino okuva mu 1993 eggwanga lino weryafunira Independece paka kati .

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top