Bassentebe b’amaggombolola agakoala konsituwense ya mukono ey’amambuka okuli e ggombolola ye’ Nama ne Kyampisi bavudde mumbera nebatabukira omubaka w’ekitundu kino Abbudalah Kiwanuka Mulima mayuni lwakusimbira kkuli enteekateeka z’okusumula ebimu ku bitundu mu maggombolola gano okufuka ebibuga ebisookerwako okuli Tawuni bbodi ne tawuni kanso, Mulima mayuni azze akyogera lunye nti simwetegefu kukiriza nteekateeka eno nategeza nga bwetalina weyambira muntu wawansi okugyako okubinikibwa emisolo ate nga obuwereza butono ddala.
Ssentebe w’eggombolola ye Nama Isabirye jonhbosco Emma ategezeza ng’e bweyatuka edda mu kanso ya district y’emukono okufula ebitundu omuli Mbalala ,Nmawojolo muwala okusumusibwa mu kisanja kya 2016 wabula tamanyi lwaki nabuli kati nama ng’eggombolola tenafuna kibuga kisumusibwa era wano wasinzidde nategeza nga kati wakiri eggombolola ye’Nama efulibwe tawuni kanso.
Mumbera yemu ssentebe we Kyampisi yiga Jamir ategezeza ng’omubaka bwatalina mutima gulumirirwa bantu bakikirira nategeza nti okutondawo tawuni kanso kiyambako okwongezebwa kunsimbi gavumenti zesindika okukola emirimu , jamir ategezeza nga bwebalina okusoomozebwa olwobunene bwe’ ggombolola okusoobola okutusa obuwereza ku bantu.
Ebituntu okuli Kalagi ,kabembe nawalala mu ggombolola ye’ kyampisi byebisubirwa okusumusibwa okufulibwa ebibuga ebito.