Akulira ekisinde ki People’s Front for Transition (PFT), Dr Kizza Besigye akungubagidde Gen Elly Tumwine eyafudde wiiki ewedde era nabasaba bannayuganda obutamusalira musango kwebyo ebyamusobako.
Okusaba kuno Besigye yakukoledde mu Kampala bweyabadde ayogerako ne bannamawulire ku Lwomukaaga.
“Ndowooza twewale okusalira abantu omusango naddala ng’omuntu amaze okufa kuba mu kiseera kino buli kimu kibeera kisigadde mu mikono gya Katonda,” Dr Besigye bw’annyonnyodde.
Besigye agamba sikya buntu abamu okujaganya nga waliwo afudde nasaba abakikola okweddako.
Okusinziira ku Besigye kizibu okumanya omuntu enkolagana gyabadde alina ne Katonda mu kadde wafiiridde kuba wadde oli abadde yeeyisa bubi naye ate asobola okufa nga yeenenyeza.
Besigye annyonnyodde nti ennono y’obwenkanya ewa omuntu ayogerwako eddembe okwewozaako naye ate kino tekisoboka ku muntu abeera afudde.
Gen. Tumwine yafiira Nairobi ku Lwokuna gyeyali atwaliddwa okujjanjabwa oluvannyuma lw’okumala ekiseera nga atawaanyizibwa ekirwadde kya kkookolo.
Oluvannyuma lw’amawulire g’okufa kwa Tumwine okusaasaanya obubaka obwenjawulo bwatandika okuva mu bannayuganda omuli obwali busaasira ate obulala bwali bukudaala nabamu okulaga nti tebanyoleddwa.
Besigye ategeezezza nti wadde bannayuganda bawulira nti batwaliddwako buli kimu gavumenti ya NRM olw’engeri gyebayisizaamu naye tebalina kusanyukira kufa kwa muntu.
Bw’abadde ayogera ku mugenzi naddala kwebyo byeyakola mu lutalo lw’ emyaka 5 olwaleeta NRA mu buyinza nga yali muntu wa mpisa era omukozi ekyo.