Agebunayila

Besigye bamulumiriza okuba mu lukwe lw’okulwanyisa NUP.

Ebyama byongedde okuvaayo ku bisawo bya ssente ezigambibwa okuva mu gavumenti okuyambako FDC okukkakkanya amaanyi ga NUP mu kulonda okwaggwa.
Bukedde asobodde okufuna lipooti enzijjuvu ey’akakiiko k’abataka abeebuuzibwako ensonga mu FDC akaakoze okunoonyereza ku ssente ezigambibwa okuba mu buwumbi 18 ezaavuddeko okutabuka nga kati ekibiina kyetemyemu ebiwayi bibiri.

Eyali omubaka wa Palamenti Dr. Frank Nabwiso yayanjulidde akakiko lipoota yaabwe ng’erumiriza nga Dr. Kizza Besigye bwe yamanya ku bya ssente ezaayiika mu kibiina nga zasooka kutuukira ku Ssaabawandiisi w’ekibiina Nandala Mafabi ne pulezidenti w’ekibiina Patrick Oboi Amuriat oluvannyuma ezimu ku ssente ne bazitwala ewuwe.

Besigye yawa obujulizi mu kakiiko nga June 6, 2023 bwe yabuuzibwa ekibatabula ne Nandala n’agamba nti yamumanya okuva mu 2001 nga tebafunangako butakkaanya ng’abantu.
Kyokka mu September wa 2021, Nandala yamusaba amuterekere ssente eziwera obukadde 500, wadde nga yamuwa 300. Mu kiseera kye kimu, Besigye we yafunira amawulire okuva mu maka g’obwapulezidenti nga galaga nti abamu ku banene mu FDC abakulirwa Nandala baali baweereddwa ssente. Besigye kino kyamutabula n’atuukirira Amuriat n’amubuuza oba ng’aliko ssente ze yali afunye okuva ewa Nandala.
Amuriat yategeeza Besigye nga bwe yafuna obukadde 280 ezaamuweebwa Nandala ziyambeko mu kutambuza kampeyini, era okuva olwo tebaddamu kukwatagana.

Enkiiko ezenjawulo zaatuula ku nsonga eno nga waliwo n’olwatuula e Busabala ewa Wasswa Birigwa, ssentebe w’ekibiina ne bakkiriziganya omuwanika w’ekibiina abawe ensaasanya n’embalira ya ssente zino.

Lipooti lwe yalina okwanjula, Besigye agamba Nandala yasituka mu lukiiko n’amubuuza ekiti mwe yali asinziira okubabuuza embalirira ya ssente. Kino kye kyamuwaliriza ensonga okujongerayo mu lukiiko lwa National Council olwateekawo akakiiko okugibuulirizaako. Ku ky’obutanoonyeza Amuriat kalulu mu kkampeyi z’Obwapulezidenti, Besigye yagambye nti yali yategeeza abakulu mu kibiina mu 2018 nga bw’atajja kwesimbawo mu 2021 kyokka ne batafaayo kunoonya muntu mulala. Kyokka ku ssaawa esembayo ne basimbayo Amuriat mu kupapa.

Ekirala Amuriat yali ataddewo ekifo ekirina okukwanaganya eby’okunoonya obululu ekya Campaign Bureau ekyalina okukulirwa Wasswa Birigwa. Kyokka kyagyibwawo mu ngeri etategeerekeka nga bwe yatuukirira Amuriat teyakitwala nga nsonga.

NANDALA ALUMIRIZA BESIGYE OKWAGALA OKUBALUNDA NG’ENTE
Ssaabawandiisi wa FDC, Nathan Nandala Mafabi yagenda mu kakiiko nga June 7, 2023 gye yategeereza nti Besigye abafuukidde ekizibu kuba ayagala okubalunda ng’ente, ng’ayagala bamulage buli ekikolebwa, ng’ate we yabeerera mu bukulembeze teyakikola. Akakiiko kaamubuuza ku byali byogerwa nti Pulezidenti Museveni yali ayagala kumulonda ku bwaminisita w’ebyensimbi oba okubeera Gavana wa Bbanka Enkulu. Kyokka gano yagayita matu ga mbuzi. Ku kya ssente Besigye zaamulumiriza okufuna, yagambye nti bwe baali bagenda mu kkampeyini za 2021, ekibiina kyali kyetaaga obuwumbi bubiri n’obukadde 700 nga tabaliddeko zakukubisa ebifaananyi n’okuwa abeesimbawo.
Agamba nti olukiiko lwa National Executive Committee lwamulagira yeewole ssente. Yatuukirira Dr. Besigye abayambeko okubanoonyeza ku ssente, kyokka yabakomya ku kya kubasaba mbalirira gye baamuwa. Yanoonya ssente okuva mu bantu ab’enjawulo ez’okusasula abagenda okukuuma akalulu. Kyokka olw’okuba ekitongole ky’omusolo ekya URA kyali kirondoola nnyo akawunti ze, yasalawo okuggyayo obukadde 500 kwe yawa Besigye.
Ssente zonna ezaakozesebwa mu kampeyini, Nandala agamba zaali mu makubo matuufu era nga n’okuggyawo Campaign Bureau gye bamuvunaana kyasalibwawo Amuriat yennyini kuba baali balinnyisizza ssente nga baagala obuwumbi 130 okugitambuza ezitaaliwo. Emmotoka ze bamulumiriza okugula mu ssente ezaava mu ddiiru, Nandala agamba nti baagula Land Cruiser UBF 042E nga May 6, 2019 ne bagiteeka mu mannya g’ekibiina. Kabangali endala ze baagula okuli; UBH 236Z, UBH 410Z Hard body ne Toyota HIACE UBH 762V Model 2012 ezaagulibwa ku bbanja. Akakiiko keekebejja empapula nga emmotoka ziri mu mannya ga kibiina.

EKANYA AYOGEDDE
Geoffrey Ekanya, omuwanika wa FDC yagambye nti ennyingiza y’ekibiina yakendeera kuba abaali mu bukulembeze abamu baagaana okubalaga amakubo gye baggyanga ssente. Yagambye nti ebya ddiiru ya ssente tabimanyi wadde ng’era wabaddewo enkola okuva mu 2005 gye bakkaanyako obutayogera makubo gye bajja ssente eri bamemba bonna era eno y’ebadde egobererwa. Yagambye nti olumu baawaako ofiisi ye Katonga (ekulirwa Besigye) ssente bakunge abantu mu kulonda abaali beesimbyewo ku bwassentebe bwa LC l, kyokka tebalina kye baakola wadde okubawa embalirira.

WILBERFORCE KYAMBADDE
Wilberforce Kyambadde omumyuka w’omuwanika wa FDC naye yeewuunya Besigye kuba mu kkampeyini za 2016 lumu yaleeta ssente ennyingi ennyo ng’awamu zaali zisukka mu buwumbi obubiri naye teyababuulira gye yali azijje.
“Olumu yaleeta ddoola za America emitwalo 10 (obukadde 370) olulala ddoola emitwalo 20 (obukadde 740) ate olulala yaleeta doola emitwalo 40 nga zino zali zisukka mu kawumbi,” Kyambadde bwe yagambye.
AMURIAT KY’AGAMBA
Amuriat yategeeza akakiiko nga bwe yali atamanyi nsonga eyatwaza Besigye ensonga ya ssente mu lukiiko lwa National Council nga baali bamaze okutuula ne bateesa ku nsonga eno era bamulaga ebiwandiiko byonna ne basuubira nti yali amatidde. Ssente ezoogerwako agamba baazeewola nga Joyce Nabbosa Ssebuggwawo eyali omumyuka wa ssentebe w’ekibiina mu Buganda ye yakubi-riza olukiiko olwasemba ekyokwe-wola era n’awaayo obukadde 20.

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top