Ebyobufuzi

Bibino ebigambo ebyobusagwa ebiri emabega w’omusango gwa Faaza we masaka

Faaza: Bibino ebigambo ebyobusagwa ebiri emabega w'omusango gwa Faaza we masaka

Poliisi ye Masaka egudde emisango gy’ettemu ku bwanamukulu we kigo kye Bisanje e Masaka Fr.Richard Mugisha era n’emulagira okweyanjula ku kitebe kyaayo e masaka  ku lw’okukona lwa wiiki eno awatali kwebuzabuza, asobole okukola sitatimenti ku musango gw’okukuba Ronald Kyeyune n’atuuka n’okufa.

Fr.Mugisha ajjukirwa nnyo mu kalulu akawedde bwe yatabukira ennyo pulezidenti Museveni n’ategeeza nga bwabuzabuzizza ennyo banna Uganda nga kino kye kyaali ekiseera okuva muntebe agirekere abavubuka abato abakyalina ku maanyi.

Ono yagamba nti, “buli kintu kirina obudde bwakyo, bwe buba nga obudde bwabavubuka nga Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) lwaki Museveni tabawa buyinza bakulembere abantu ba Katonda”,bwatyo n’abakungu abantu okuwagira Bobi mu kalulu ako nga bwavumirira n’ebikolwa byebitongole ebikuumaddembe ebyali biyitirizza okukwata n’okubuzaawo abali kuludda oluvuganya gavumenti.” bwatyo fr. Mugisha bwe yayogerera ku mukolo gw’okuziika omukristu e Masaka.

Ebigambo bya Fr. Mugisha bizze bitambula nnyo abakulu mu gavumenti era Lumu yalopebwako eri omusumbawe Solvenius Jjumba, kyokka ne watabawo ky’amanyi kyakolebwa.

Mu kiro ekyakeesezza olw’okusatu nga 13, omuzingu eyategerekeka nga Ronald Kyeyune yayingirira ekigo kye Bisanje ekisangobwa e Masaka n’amenya era n’ayingirira ekikomerela n’ekigendererwa eky’okubba mmotoka ye ekika Kya Toyota Harrier (Kawundo).

Joseph Mutayomba Ono nga ye sentebe w’ekyalo Bisanje era nga y’omu kubavunanibwa ne fr. Mugisha yategezezza nti bwe bawulidde enduulu nga ba faaza balumbiddwa, bayanguye okutuuka ku kigo okulaba ogwabadde gubadde.

“Bwe twayingidde geeti y’aba Faaza, omu kubakozi eyasoose okulaba omubbi ng’ali ku mmotoka ya Fr.Mugisha ajikoona endabirwamu, , twetolodde mmotoka era bwe twajikebedde Munda, era twasanzemu omusajja ng’ali bwerere ng’atudde mu mutto ogw’emabega nga yenna yesiize oilo w’emmotoka” bwatyo Mutegomba bwe yagambye.

Mutegomba era yagambye nti basobodde okusinza Kyeyune amaanyi ne bamusiba n’omuguwa, olwo ne bakubira poliisi. Ssi kituufu nti omusajja Oyo yakubiddwa okutuusa okufa nga poliisi bwegamba kuba yamukima ku kigo nga mulamu bulungi, kale bwaba yali akubiddwa, lwaki poliisi teyamusokeza mu ddwaliro n’esalawo okumutwala mu kaddukulu kaayo gye yafiridde? Mutegomba bwe yayongeddeko.

Kyeyune nga tannagya, omwogezi wa poliisi mutundutundu lye masaka Muhammed Nsubuga yategeeza abamawulire nti poliisi we yakwatira Kyeyune teyalina kiwundu kyonna wabula oluvannyuma yafuna obuzibu era n’afa bwe Bali bagezako okumutwala mu dwaliro lye Masaka.

Fr. Mugisha yategezezza nti yewuunya okulaba nti poliisi emuggulako emisango gy’obutemu ng’ate omutemu yafiira mu mikono gya poliisi.

‘Lwaki poliisi entekako emisango gy’obutemu ng’ate nze nasemba okutuuka omubbi we yali, nze ssittanga ku muntu yenna, nze  nandibadde n’emulugunya ku poliisi nti lwaki omuntu eyannumbye ate yafudde tawozeddwa” bwatyo fr.Mugisha bwe yemulugunyizza eri poliisi.

Abamu kubakristi mu kigo kye Bisanje bategezezza ng’okufa kwa Kyeyune bwe kuyinza okubamu eby’obufuzi olw’ebigambo ebikaawu byabadde atera okwogerera gavumenti, nga kino kye kiseera abisasulire.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top