Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi alangidde Sipiika Anita Among okuyingiza enguzi mu Palamenti kyagamba nti kigenda kutatana emirimu awamu n’ekitiibwa kya Palamenti.
Okwogera bino Kyagulanyi abadde ayogera ku by’okukwatibwa Kw’ omubaka wa Bukoto South Twaha Kagabo ku nsimbi obukadde 40 zagamba nti zamuweebwa Sipiika Among nga abasiima okuyisa enjogereza y’embalirira.
Bobi Wine ategeezezza nti ebikolwa bya Kaliisoliiso ne Sipiika Among biraga nti bakozesa bubi woofiisi zabwe era beetaaga kunoonyerezaako.
Kino kiddiridde Sipiika Among okusaba akakiiko ka Palamenti akakwasisa empisa okunoonyereza ku mubaka Kagabo ku bigambibwa nti yafuna ekyojjamumiro.
Kinajjukirwa nti mu June, amawulire gafuluma nti bafuna obukadde 40 nga akasiimo era oluvannyuma akulira NUP, Robert Kyagulanyi Ssentamu yabasaba okuzzaayo ensimbi zino kuba zaali zakibi.
Eggulo Kagabo yazizzaayo obukadde bino 40 wabula oluvannyuma nakwatibwa annyonnyole ku bikolwa by’okulya enguzi.
Kyagulanyi agasseeko nti buli muntu yenna eyeekika mu kkubo lya Sipiika Among akolwako ebitongole ebirala okugezaako okumutiisatiisa.
Awadde eky’okulabirako kya Francis Zaake bweyamwekikamu, Sipiika Among aliko ababaka beyayitamu okwagala okumuggyamu obwesige.
Kyagulanyi agamba nti bwewavaayo abakozi mu Palamenti abafulumya amawulire ku mmotoka y’obuwumbi 2 Sipiika gyeyagula bagobwa ku mirimu.
Kyagulanyi agasseeko nti kino kirina okubaako ekkomo okusobola okutaasa ekitiibwa kya Palamenti.
Okusinziira ku Bobi Wine, Kaliisoliiso nebitongole ebirala balina okunoonyereza ku nguzi eyaweebwa ababaka mu bwenkanya namazima.