Pulezidenti wa NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) ategeezezza nti beetegese okukozesa enkola eyali e Sri Lanka, Libya ne Sudan okumamulako obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni.
Okulabula kuno Kyagulanyi yakukoledde Makerere Kavule webagenda okuzimba ekitebe ky’ekibiina, ku mukolo kwayanjulidde abamu ku bammemba abapya abasaze eddiiro okuva mu Democratic Party (DP).
“Ffe tulina okulwanirira ebiseera bya Uganda eby’omu maaso. Abalijja bagenda kutunenya ku kubonaabona kwabwe singa tewabaawo kyetukolawo. Twetaaga okwenunula, Museveni alina okugenda mu mbeera yonna,” Kyagulanyi bweyannyonnyodde.
Kyagulanyi agamba nti webituuse tebasobola kuggyako Pulezidenti Museveni nga bakozesa akalulu olw’emivuyo egikalimu nasaba bannayuganda okubeegattako basobole okuggyako obukulembeze bwalumiriza okuwamba eggwanga.
Bobi Wine annyonnyodde nti ekiseera kituuse bannayuganda bakope ku bukodyo bannansi ba Libya bwebakozesa okugoba Gaddafi awamu ne Sudan okwegobako Omar Bashir.
Okusinziira ku Kyagulanyi kisoboka bulungi bannayuganda okuteeka mu nnkola ennyingo nnamba 3 eya Ssemateeka ekakasa nti bannayuganda basobola bulungi okuggyako gavumenti singa balaba nti tekyabaweereza wabula ebatulugunya.
Kyagulanyi abasabye okwetegeka okusobola okutaasa ebiseera by’eggwanga eby’omu maaso.Wabula gavumenti tenavaayo kwanukula Kyagulanyi ku bubaka buno obwokukunga bannansi baginaabire mu maaso.
Kyagulanyi era alabudde abawagizi be okwewala okuggwa mu katego ka Pulezidenti Museveni nga abagulirira n’okubawa ssente era nabasaba okuboola oyo yenna gwebazuula nti akukuta ne gavumenti eno.