Akulira ekibiina ki National Unity Platform, Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agamba nti okuyiganyizibwa okuliwo ku mulamuzi wa kkooti ensukkulumu Esther Kisakye biriwo lwakubaganba yayimirira ku mazima nasalawo okulwanirira Ssemateeka.
Kino kiddiridde olutalo lw’ebigambo okubalukawo wakati w’omuteesiteesi omukulu ow’essiga eddamuzi Pius Bigirimana n’omulamuzi Kisakye.
Ennaku eziyise Bigirimana yavaayo nawandiikira omulamuzi Kisakye ebbaluwa nga ayimiriza omusaala gwe okumuweebwa olw’okwebulankanya ku mulimu nga takkiriziddwa.
Bweyali ayanukula, Omulamuzi Kisakye yategeeza Bigirimana okumulwanyisa kuba mu byafaayo tewaliwo mulamuzi yenna wa kkooti ensukkulumu eyali yeetaaze kweyanjula eri omuwandiisi w’ekitongole kino.
Ye Bobi Wine agamba nti okusinziira mu biriwo ekitabula ababiri bano si musaala naye avunaanwa kuyimirira ku mazima wamu n’okulwanirira bannayuganda.
“Omulamuzi Kisakye bamuvunaana kuyimirira na bannayuganda nakunywerera ku kirayiro kyeyakuba nagaana okukozesebwa mu kifo kyokugondera ebiragiro by’ abakulu. Omulamuzi Kisakye tumusiima olw’okuyimirirawo era tukakasa nti ebiseera by’omu maaso bijja kumwejjeereza,”Bobi Wine bw’agambye.
Kyagulanyi ategeezezza nti eby’okutulugunya omulamuzi Kisakye byongera kutatana kifananyi kya ssiga ddamuzi kuba ennyingo 128 .
Bobi Wine agasseeko nti abalamuzi abalina obukugu tebakuzibwa era batulugunyizibwa olw’ensonga nti balabibwa nga abawakanya gavumenti.
Ono yeewunya lwaki Omulamuzi nga Kisakye emyaka egisoba mu 13 alekebwawo obwa Ssaabalamuzi nebuweebwa Owiny Dollo atamwenkanya bumanyirivu.
Kinajjukirwa nti omwaka oguwedde bwebaali mu musango gw’eby’okulonda ogwa 2022, Kisakye yagugulana ne Ssaabalamuzi Owiny Dollo era nasoma ensala ye eyayawukana ku ya banne ku kifuba era yaliwo yekka.
Abatwala ekitongole baggyako emizindaalo awamu n’amasanyalaze nga Kisakye agenda mu maaso n’okusoma ensala ye.