Ebyobufuzi

Bobi Wine ne Gen Sejusa basattira

Bobi Wine ne Gen Sejusa basattira

Akulira ekibiina kya Natioal Unity Platform (NUP) Robert Kyaggulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine ne munnamagye Gen David Sejusa batandise okusattira oluvanyuma lwokukitegeera ng’ebimu ku byama byabwe eby’omunda  bye bizze biguzibwa Pulezidenti Museveni.

Mu ngeri yeemu n’aba NUP abalala n’aba opozisoni nabo beerakirivu bwekizuuse nti ebitongole ebikessi omuli ISO, ESO, CMI ne JAT bizze bikozesa obukodyo omuli nokukwana, okusensera oba okukozesa bakazi babwe okubabega (abaami).

Gyebuvuddeko ngokulonda kwa 2021 Museveni mweyalangiriddwa okuwangula Bobi Wine ne banne Pulezidenti Museveni yasooka kulabula nti yali amaze okutega emitego okusaanyawo opozisoni.

Ensonda zaategeezezza nti okuva mu kalulu ka 2011 Pulezidenti yayongera amaanyi mu kunafuya opozisoni nga nakamu ku bukodyo bwabadde akozesa kwe kumanya pulaani zabwe zonna olwo nakola ekisoboka okuziwummugula.

Kigambibwa nti obumu ku bukodyo NRM bwebadde ekozesa kwe kulumika ebyama byabanene ba DP,FDC,UPC ne NUP kasita yeeraga nti kyekibiina ekivuddeyo okulemesa NRM.

NRM era kigambibwa nti  ezze erumika ebyama byabanene mu seculite ne mu gavumenti ngekozesa obukodyo obwenjawulo omuli okubabegera mu bakazi babwe,baganzibabwe oba Bamalaaya babwe oba abayambi babwe .

Omu ku bambega abakukutivu yeesekedde n’agamba nti Gavumenti zonna zikkirizibwa okubega okusobola okunyweza seculite nagattako nti abakazi balungi nyo okubegeramu kubanga tewali musajja atakwana oba okweyabya ewa mukaziwe.

Abakazi abawerako bakaba opozisoni bazze bagwamugafo oba okwabulira ebibiina byabaami ne beegatta ku NRM era kigambibwa nti bano babadde basobola bulungi okusooka okukozesebwa okubega ebyama byabaami babwe.

Kyokka Gen Sejusa okutuuka okwongera okwekenga ne Bobi Wine, baamaze kukizuula nti okumala ebbanga mukazi w’omuyambi wa Gen Sejusa era omu ku bannakibiina kya NUP mu Busoga, Moses Bigirwa.

Wiiki ewedde Pulezidenti Museveni yeekubizza ekifanaanyi ne mukyala wa Bigirwa ayitibwa Kagoya Racheal.

Ono abadde ne Bigirwa nga bafumbo okuva mu 2013. Obwo bwebudde Gen Sejusa wetandikira okutabukira ddala ne Pulezidenti Museveni natuuka nokudduka mu ggwanga.

Oluvanyuma yalonda Bigirwa okuba omuyambiwe era omwogezi we ate oluvanyuma Bigirwa yakwatagana ne NUP era nagitunda nyo mu Busoga ne banne abalala era Bobi ne NUP bamaanyi  nyo mu Busoga.

Bigirwa yategeezezza omusasi ono nti kisoboka okuba nga byonna byabadde akola ewaka, okwogera ku massimu ne banne ne bakamabe naddala mu byobufuzi nga Kagoye abadde abiwereza butereevu mu State House nebitongole ebikessi.

Kyokka yagambye nti yatandise okwejengera maama wabaana omwaka oguwedde era ne natabuka bubi ngategedde nti simwangu.

” Ekituufu ndi matigga olwomukazi oyo simanyi byazze ankungaanyamu ne bannange kubanga ewaka osobola okukuba essimu noyogera byonna ne bw’oba mu kisenge ” bwe yategeezezza.

Ebyo nga bikyaaliwo, gyebuvuddeko waliwo akatambi akazze kasasanira kumitimbagano gy’ebyempuliziganya egya Facebook nga Kali mulinnya lya   Gen. David Sejjusa nga yemulugunya olw’engeri abasilikale bamagye abokuntikko gye bafamu ennaku zino. Bino byazze Oluvannyuma lw’okufa kw’eyali  omumyuuka wa ssabapoliisi paul Lokech eyafiira mu makage.

Ku mukutu guno, oguli mu mannya ge yataddeko akafananyi kempisi enkulu ng’erya empisi ento, n’atekako ebigambo ebigamba nti,” gavumenti erya abaana baayo, ekyo kyenyinza okwogera, naye wummula mirembe munywanyi.

Wabula moses Bigirwa yategezezza ng’omukutu ogwo Bwe guli omujingirire, era obubaka obwo tebwabadde bwa Gen.Ssejjusa ng’abantu abamu Bwe babadde batandise okubityebeka

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top