Amawulire

Buganda eyagala ekyapa ky’ ettaka okuli Ham Towers kisazibwemu.

Obwakabaka busabye Minisitule ekola ku nsonga z’ettaka okusazaamu ekyapa kya Hamis Kiggundu amanyiddwa nga Ham ekiri ku Bulooko nnamba 9, Poloti 923 nga bugamba nti kino yakifuna ku ttaka lya Kabaka mu bukyamu.

Bano nga bayita mu kitongole ki Buganda Land Board (BLB) bagamba nti nakino Ham yakifuna ku ttaka lya Kabaka erya Mailo erisangibwa ku Bulooko 9, Poloti 440 nga Ham kweyakola Poloti 923.

Buganda era egamba nti ettaka lino Ham yalifuna mu bukyamu nga yeeyambisa ekitongole ki KCC kyokka nga si kyekyalina obuvunaanyizibwa ku ttaka lino.

Okusinziira ku bizuuliddwa mu minisitule y’ ebyettaka bwokebera Bulooko 9, Poloti 440 okwatuuzibwa Poloti 923 liraga nti ekyapa kino kikyaliyo nga kiri mu mannya ga Kabaka wa Buganda  wadde ate bwokebera Bulooko 9, Poloti 923 tolina kyofuna ekyongera okuleetawo ebibuuzo.

Wadde ensonga ziri bweziti naye okusinziira ku biwandiiko bya kkooti Hamis Kiggundu yakozesa ekyapa kino okwewola ensimbi okuva mu Exim bbanka ne Orient bbanka .

Kinajjukirwa nti Obwakabaka bwasooka kuwandiikira Ham okutereeza obusenze ku ttaka lino naye nagaana okuwa obusuulu nga bweyali asabiddwa.

Wano ekitongole ki Buganda Land Board wekyasinziira okuwandiikira minisitule y’ ebyettaka nga basaba ekyapa kino kisazibwemu.

Omwogezi w’ekitongole ki BLB,  Dennis Bugaya, agamba nti kyebasooka okukola kubeera kusaba abantu bonna abafuna ebyapa ku ttaka mungeri etategeerekeka okugenda gyebali batereeze ensonga.

“Bwetulemwa okukaanya, olwo tuddukira mu minisitule y’ebyettaka netusaba etuyambe esazeemu ebyapa. Mw. Kiggundu twasooka kwogera naye wabula nga tatufaako netuddukira mu minisitule esazeemu ebyapa bino era nga tukakasa nti kino bagenda kitandikako mangu,” Bugaya bw’annyonnyodde.

Lino si lyettaka lyokka eririko obutakkanya wakati wa Buganda ne Ham Kiggundu nga bamulumiriza okulitwala mu makwetu, bano balina obutakkanya ku ttaka lye Kigo nga nalyo Ham yalifuna ku ttaka lya Kabaka mungeri eriko akabuuza.

Eno kuliko ettaka lya  Kyadondo block 273, plots 23974, 23975 ne 23976  nga ebyapa bino yabifuna ku ttaka lya mailo ya Kabaka ku bulooko 273.

Akola nga Kamisona w’okuwandiisa ettaka mu minisitule, Baker Mugaino yalagira ebyapa bya Kiggundu bisazibwemu kuba byali biyingira ku ttaka lya Kabaka .

Wano Ham yatwala Kabaka mu kkooti nga kati ekirindiriddwa kwekulaba nga kkooti etandika okuwulira omusango guno.

 

 

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
$(".comment-click-4586").on("click", function(){ $(".com-click-id-4586").show(); $(".disqus-thread-4586").show(); $(".com-but-4586").hide(); });
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });