Munnamagye Col Edith Nakalema akulira ekitongole kya State House ekirwanyisa enguzi agambye nti bamaze okufuna obukodyo okukakasa nti buli mulyi wa nguzi agivaako kubanga babetegekedde bulungi.
Agambye nti emyaka esatu gyamaze mu kitongole kino ne tiimu ye eya poliisi n’amagye bazudde bingi nobukodyo abalyake bwebakozesa omuli nabanene abakwatagana ne basitaafu babwe okulya enguzi.
” Enguzi ffenna etukosa ngeggwanga yensonga lwaki tumaliridde ogilwanyisa ekirungi tufunye obusobozi okukwata abagirya ne bwebabeera banene” Edith Nakalema bwe yategeezezza.
Bino yabitegeezezza bwe y’abadde ku ttivi ya BBS wiiki ewedde okutangaaza ku mirimu gyekitongole kya State House Anti-corruption Unit kyakulira Kati emyaka esatu.
Yagambye nti enguzi esinga kulibwa mu kutiisatiisa ne tonvaamu ngeno nabanene bagijwasaganya nabakozi babwe abawansi.
Nakalema yagambye nti mu bbanga eryo basobodde okununula obuwumbi 30,nga zino zibadde zigenda kubibwa mu kakodyo kabanene mu gavumenti okukuba enjawulo nebikolwa Ebirala ebyekifere.
Nti waliwo nabantu 329 bebasimbye mu kkooti ku misango gyobulyake.
Yasiimye bannansi, bannamawulire olwokulwanyisa obulyake nagamba nti afuna abaloopa ebikolwa byobulyake abasoba mu 300 buli lunaku.