Amawulire

Diamond abotodde ebyama ku Zari.

 

Diamond myaka 34 ku Lwokutaano yabadde Kololo mu kivvulu kya Comedy Store ekyasombodde abadigize okuva mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo.

Ku siteegi, yasobodde okuyimba ennyimba za bannayuganda babiri (2) okuli Maama Mia olwa Dr Jose Chameleone ng’agamba nti y’omu ku bayimbi beyali yegoomba okutandiika okuyimba.

Mungeri y’emu yasobodde okuyimba oluyimba lwa Aziz Azion ‘Nkumira omukwano’.

Diamond mu ngeri y’okulaga nti ddala musajja alina laavu, yasobodde okusindikira eyali mukyala we Zari Hassan oluyimba olwo ‘Nkumira Omukwano’ n’okumwebaza okuba maama omulungi kuba yamuzaalira abaana 2.

Wadde Diamond alina abaana mu bakyala ab’enjawulo, Zari yamuzaalira abaana 2, abalala balina omwana omu (1) yekka.

Mu kayimba ‘Nkumira Omukwano’, mulimu ebigambo ebijjudde omukwano era kabonero akalaga nti Diamond ayinza okuba akyalina omukwano eri Zari.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top