Ebyobufuzi

Ebya Gen. Tumwine bibi, Ebigambo bye yayogedde ku Museveni ne Muhoozi bitandise okumusiiwa

Ebya Gen. Tumwine bibi, Ebigambo bye yayogedde ku Museveni ne Muhoozi bitandise okumusiiwa

Ebigambo Gen Elly Tumwine bye yayogeredde Pulezidenti Yoweri Museveni ne mutabaniwe Gen Muhoozi Kainerugaba ku byokulemera mu buyinza natabukira pulezidenti aweeyo Entebe mu mirembe bitandise okumusiiwa

Ensonda mu seculite ne NRM zaategeezezza nti waliwo abanene abatandise okwesamula Gen Tumwine nga batya okwefiriza diiru, emirimu, ne pulomosoni mu bintu ebyenjawulo.

Waliwo ebigambibwa nti bwomala galumba Pulezidenti Museveni bwotogendereza oyinza okulinya gye gaba ewatali kifaayo ku kiki kyoli mu kiseera kino nti ate bwogattako ne mutabaniwe Muhoozi aduumira amagye gokutaka obeera obyonoonedde ddala.

“Muzeeyi akyalina obuwagizi ate obwa Muhoozi bukula Kati abantu babwe bonna Gen Tumwine bamulaba bbule” omu ku ba NRM bwe yagambye.

Munnamagye munnansiko Gen Kahinda Otafiire nga ye minisita w’ensonga ezomunda ennaku ezo yalabudde Gen Tumwine nti byayogera tebilina makulu.

Yamugambye nti endowoozaye tagisiba ku balala kubanga buli omu yeetegerera.

Yagambye nti oba akooye okulaba Museveni ngafuga amatize abalonzi bamumme obuwagizi.

Ono y’abadde ayogerera ku CBS  era nalabula nti tamaanyi Tumwine bwalaba bintu.

Ate omuntu waffe mu byokwerinda yategeezezza nti Museveni tayagala nyo Muntu amuwabulira mu lujjudde.

Yagambye nti Gen Tumwine ngomu ku bawabuzi ba Museveni bwe yandibadde nensonga yandinoonyeza Pulezidenti namwegambira.

” Bannansiko abalemeddwa okumanya emikutu mwebalina okuyita bamaliriza bubi ne Museveni era abasinga obamanyi nga Gen Biraalo kati omugenzi mwomutwalidde” Ono bwe yagambye.

Biraalo tatabuka ne Pulezidenti Museveni natuuka nomwesimbako era omukulu nasigala mulaba bulabi.

Kigambibwa nti bwe yali anatera okufa Biraalo yayita omu ku badduumizi bamagye ebiseera ebyo namutuma amwegayirireko Pulezidenti bwaba afudde asibulwe mu bitiibwa, ebyadirira mu kufakwe bimanyiddwa.

Gen. Elly Tumwine bwe y’abadde awaayo  obuyinza eri minisita Jim Muhwezi eyamudidde mu bigere yategeeza nti,”Nga pulezidenti Museveni bwe yannonze okubeera omuwi w’amagezi, ŋenda kufuba okulaba nga muwa amagezi aweeyo obuyinza mu mirembe awatali kuyiwa musaayi kuba ekyatutwala mu nsiko kwali kuleeta mirembe mu Uganda sso ssi kulemerawo”.

Yagambye nti ” Bannayuganda bwe babeera bamaze ebbanga nga batulonda ku bukulembeze, ne batuuka ekiseera nga batukooye, lwaki ate tubeera tubeesibako ddala ekyo kye kyatutwala mu nsiko?

Kino kiddiridde abantu abamu omuli abaalwana mu lutalo olwaleeta gavumenti eno n’abali mu gavumenti bagamba nti ebyo nabyogeza busungu kubanga pulezidenti Museveni yali ansudde kubwa minisita kyokka ssi kituufu sakyogeza busungu. .

Tumwine yagaseeko nti nebyokupanga okuwa Gen Muhoozi okusikira kitaawe bikyamu kubanga buno sibwakabaka.

Oluvanyuma Gen Tumwine yategeezezza Ssekanolya nti “Nze byenayogera nabyogera era sirina kye nnejjusa ku bigambo byange, abo bonna abannumba baddembe okwogera bbo bye baagala naye nze ebyange byange era binva ku mutima”.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top