Ebyobufuzi

Ebya Lumbuye biwedde, embassy ya Uganda egenda kumufunira pasipoti yetaaye

Ebya Lumbuye biwedde, embassy ya Uganda egenda kumufunira pasipoti yetaaye

Ku Lwokuna lwa wiiki ewedde minista w’ensonga z’ebweru we gwanga ku ludda oluvuganya gavumenti era Nga ye mubaka akikirira Kyadondo East mu palamenti Muwada Nkunyingi yasinzidde ku mukolo egwanga lya Turkey kwe likuliza lunaku lwalyo (National day) n’alajanira omubaka wa Turkey mu Uganda, ng’ayagala munnayuganda Fred Lumbuye amanyiddwa ennyo Nga chemical Ali ng’afuna eddembe lye.

Omukolo guno gw’abadde ku Sheraton hotel mu Kampala era nga gwetabiddwako ababaka bamawanga agenjawulo omwabadde owa America, German, Sweden n’amawanga amalala, Nga kumulolo Guno omubaka Nkunyingi yafunye okukakasibwa okuva ew’omubaka wa Turkey mu Uganda Ambassador Kerem Aip nti banna Uganda bonna abali e Turkey omuli ne Fred Lumbuye nti bali mumbeera nnungi era gavumenti yabwe ebakuuma ng’amateeka g’ensi yabwe n’agensi yonna nga bwe galagira.

Ambassador Kerem yagambye Nkunyingi nti, ” nafunye okukakasibwa okuva ewa minista omubeezi ow’ensonga z’ebweru we gwanga Okello Oryem nti awa nnyo eddembe ly’obuntu ekitiibwa, nti era alagidde omubaka wa Uganda e Turkey okufunira Lumbuye pasipoti nga banna Uganda abalala bwe bazze babakola, asobole okweyagala n’okutambula yonna gyayagala okugenda munsi nga Teri amutawanya ng’abantu abalala bwe Bali” bwatyo Ambassador Kerem bwe yakasizza omubaka Nkunyingi, Ng’anaze okwogera ne minista Okello Oryem.

Nkunyingi yakubye ebituli mu embassy ya Uganda e Turkey n’omubaka akikirira Uganda, n’ategeeza nti buli kimu akikola mungeri yakasoobo, olumu n’okugaana, kuba enfunda eziwera  Lumbuye abadde abatukirira ng’,ayagala okuzza obugya pasipoti ye kyokka nga bamwetolooza olw’okuba ensonga z’ebyobufuzi mu Uganda.

Lumbuye ajjukirwa nnyo mu kukwekula ebimu kubyama bya gavumenti n’abyanika ku ng’ayita ku mukutu gwe ogwa Facebook, kyokka ate ebimu ne bituukirira nga bwabeera ayogedde, nga muno mwalimu okulabula abakulu mu gavumenti ne bannaddiini nga bwe waliwo olukwe okutibbwa, kyokka era abasinga be yayogerako ne bafa mungeri ezewunyisa.

Embeera yamutabukira bwe yabika pulezidenti Museveni nga bwe yali afudde, ekintu ekyatabula ennyo omukulembeze w’egwanga n’ategeeza ng’abo bonna abali bamubise bwe bwali bubskeredde, Lumbuye yakwatibwa era minista Okello Oryem n’akakasa egwanga nga bwe yali agenda okuletebwa e Uganda avunanibwe kwebyo byonna bye yali ayogera ng’ayita ku mitimbagano gya Facebook.

Kigambibwa nti yaletebwa munkukutu, kyokka oluvannyuma n’azxibwayo nga waliwo ebyali bimaze okukanyizibwako e Gulu, n’aggalirwa mu kkomera lye Turkey, okutuusa ekibonerezo kye lwe jyagwako, nga Kati gavumenti ya Uganda eyagala afune pasipoti ye asobole okwetaaya obulungi.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top