Ebya Fred Kajjubi amanyiddwa ennyo nga Lumbuye byongedde okulanda webabaluseeyo Nabbe agambibwa okubeera mu ggwanga lya America nga ono alabikira mu Katambi akatambulira ku social media ng’agamba nti yalagula dda nti Lumbuye agenda kukwatibwa era atulugunyizibwe ku nsonga ezitali zimu n’okutibwa atibwe , yalagura n’omubaka wa Nakaseke Luttamaguzi Ssemakula nti naye ayolekedde akaseera akazibu singa teyesonyiwa nsonga z’e taka mu ggwanga
Nabbi Nuhiah mu mu katambi mwayogerera akawezza eddaki ezisoba mu 10 alabudde omubaka wa Nakaseke Luttamaguzi Ssemakula nti abasajja okuva mu gavumenti bamuyigga naye bamutuuseko obulabe nga bamulanga okubalemesa okutwala ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo naddala eNakaseke namulabula nti yegendereze kubanga abasajja bamwetolodde nti ebigenda okutuuka ku Lumbuye naye byandimutukako.
Mungeri yeemu kigambibwa nti etekateka z’okukomyawo Lumbuye mu ggwanga ziwedde oluvannyuma lw’ebigambo okuyitingana nti empapula ezimukomyawo e Uganda ziwedde kyokka wadde ebyo biri bityo naye ensonda eziva mu balooya ba NUP abaagenda e Turkey okulwana ku nsonga za Lumbuye nga baakulembebwa omubaka wa Kyandondo East Nkunyingi Muwada ne munna mateeka Anthorny Wemali zigamba nti bano bakyakola okufiirawo okulaba nga Lumbuye takomezebwawo mu ggwanga wadde nga waliwo ebitandise okuyitingana nti okubula kwa Lumbuye nga buli omu amunoonya talabikako engambo ezitandise okubungesebwa nti yandiba nga yafa ekintu ekitandise okwelalirikiliza abantu be nabamugobera ku mikutu migata bantu.
Luttamaguzi agambye nti newebanamussa ku nkalala z’a bantu abalina okutibwa mu ggwanga tagenda kukoowa kulwanilira bantu abagobwa ku taka kubanga waliwo ba mafia abagala okweddiza buli kyabugagga kyonna ekiri mu gwanga ekintu kyagambye nti tagenda kutya agenda kweyongera okulwanilira omuntu wa wansi basigaze ebibanja byabwe