Amawulire

Ebya Lumbuye bizitoye , babiyingizaamu MP .Luttamaguzi ow’e na Kaseke

Ebya Fred Kajjubi amanyiddwa ennyo nga Lumbuye byongedde okulanda webabaluseeyo  Nabbe agambibwa okubeera mu ggwanga lya America nga ono alabikira mu Katambi akatambulira ku social media ng’agamba nti yalagula dda nti Lumbuye agenda kukwatibwa era  atulugunyizibwe ku nsonga ezitali zimu n’okutibwa atibwe , yalagura n’omubaka wa Nakaseke Luttamaguzi Ssemakula nti naye ayolekedde akaseera akazibu singa teyesonyiwa  nsonga z’e taka mu ggwanga
Nabbi Nuhiah mu mu katambi mwayogerera akawezza eddaki ezisoba mu  10 alabudde omubaka wa Nakaseke  Luttamaguzi Ssemakula nti abasajja okuva mu gavumenti bamuyigga naye bamutuuseko obulabe nga bamulanga okubalemesa okutwala ettaka mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo naddala eNakaseke  namulabula nti yegendereze kubanga abasajja bamwetolodde nti ebigenda okutuuka ku Lumbuye naye byandimutukako.
Mungeri yeemu  kigambibwa nti etekateka z’okukomyawo Lumbuye mu ggwanga ziwedde oluvannyuma lw’ebigambo okuyitingana nti empapula ezimukomyawo  e Uganda ziwedde kyokka  wadde ebyo biri bityo naye ensonda eziva mu balooya ba NUP abaagenda e Turkey okulwana  ku nsonga za  Lumbuye nga baakulembebwa omubaka wa Kyandondo East  Nkunyingi Muwada ne munna mateeka  Anthorny Wemali   zigamba nti bano bakyakola okufiirawo okulaba nga Lumbuye takomezebwawo mu ggwanga wadde nga waliwo ebitandise okuyitingana nti okubula kwa Lumbuye nga buli omu amunoonya talabikako engambo ezitandise okubungesebwa nti yandiba nga yafa  ekintu ekitandise okwelalirikiliza abantu be nabamugobera ku mikutu migata bantu.
Luttamaguzi agambye nti newebanamussa ku nkalala z’a bantu abalina okutibwa  mu ggwanga tagenda kukoowa kulwanilira bantu abagobwa ku taka kubanga waliwo ba mafia abagala okweddiza buli kyabugagga kyonna ekiri mu gwanga ekintu kyagambye nti tagenda kutya agenda kweyongera okulwanilira omuntu wa wansi basigaze  ebibanja byabwe
Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top
// Infinite Scroll $('.infinite-content').infinitescroll({ navSelector: ".nav-links", nextSelector: ".nav-links a:first", itemSelector: ".infinite-post", loading: { msgText: "Loading more posts...", finishedMsg: "Sorry, no more posts" }, errorCallback: function(){ $(".inf-more-but").css("display", "none") } }); $(window).unbind('.infscr'); $(".inf-more-but").click(function(){ $('.infinite-content').infinitescroll('retrieve'); return false; }); if ($('.nav-links a').length) { $('.inf-more-but').css('display','inline-block'); } else { $('.inf-more-but').css('display','none'); } // The slider being synced must be initialized first $('.post-gallery-bot').flexslider({ animation: "slide", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, itemWidth: 80, itemMargin: 10, asNavFor: '.post-gallery-top' }); $('.post-gallery-top').flexslider({ animation: "fade", controlNav: false, animationLoop: true, slideshow: false, prevText: "<", nextText: ">", sync: ".post-gallery-bot" }); });