Ebyayogeddwa Pulezidenti Yoweri Museveni nti ekitongole kya Kabaka ekivunaanyizibwa ku byettaka ekya BLB tekiriiwo mu mateeka bireeseewo akasattiro mu Buganda olwabantu obutamanya gyebinakira.
Kyokka Mmengo erabudde nti Museveni alabika anoonya ntalo ku Buganda’ nti kubanga BLB gyalemeddeko yawandisibwa mu mateeka. Mukiseera kye kimu abalina ebyapa bya BLB balabudde nti ebitandise okuwulirwa kebitataaganya obwananyini ku ttaka Lyabwe omusaayi gwandiyika.
Bino byonna bidiridde Pulezidenti Museveni okutegeeza ba memba bolukiiko lwekibiina kya NRM olwokuntikko olwa CEC nti BLB teriiwo mu mateeka nti nolwekyo tebagikiriza okugobaganya abantu ku ttaka mu ngeri yonna.
Waliwo ebigambibwa nti NRM erowooza nti entalo zettaka mu Buganda kyekimu ku byavaako Museveni okukola obubi mu Buganda.
Eno yeentikko yolutalo lwa Museveni ku Mmengo ne BLB nga minisita we owebyettaka yeeyasooka okwesimba mu kitongole kya Kabaka ekya BLB ngagamba nti kiriwo mu bukyamu.
Wabula eggulo Mmengo yategeezezza nti eyungudde tiimu yabannamateeka okutegeeza NRM nti byebakiko Bya butaliimu.
Katikkiro wa Buganda’ Charles peter Mayiga yategeezezza nti ebbanga lyonna Mmengo ebadde ekolera mateeka nagamba nti sibetegefu kumala gajoogebwa.
Ate abamu ku babaka ba Buganda’ nga bannamateeka omwabadde ne medard Lubega segona bagambye nti kirabika Museveni alina abamuwabya nti naye ayolekedde okuswala ssemaswala.
Leo olukiiko lwabazukulu lwalabudde nti ensobi zonna ezirabika ngeziri e Mmengo ate Museveni yeeyazikola ngali navantube bayazizika e Mmengo.
Omuwandisi w’olukiiko Njuki Mubiru yategeezezza nti BLB Pulezidenti gyalumba Kati ate bulijjo akimanyi nti Ettaka Gavumenti lyeddiza Buganda’ yeerivunanyibwako.
Yagambye nti Museveni alina obusobozi okuwabula Mmengo bwaba awulidde ekimusiiwa okusinga okwogera ebyewanisa abantu emitima.
Ate abamu ku balina ebyapa bye Mmengo balabudde nti bwewabaawo omupango gwa Gavumenti okuzanyira ku ttaka waliwo okufa nobutanyaggwa.