Eby’ Omubaka w’ekibuga kye Mityana, Francis Zaake okukasuka ssente Sipiika wa Palamenti Anita Among zeyamuweereza ng’ekirabo biranze nga kati obujulizi obuliwo bulaga nti ensimbi zino Zaake yazimanyako mu kiro nga enkya mbaga nga agattibwa ne mukyala we Bridget.
Kinajjukirwa nti wakati nga omukolo gw’embaga gugenda mu maaso omubaka wa Ndorwa East, Wilfred Nuwagaba yazikasuka era wakati ekyaddirira kwekutenderezebwa okuva ew’ omumyuka w’ekibiina Waiswa Mufumbiro n’abalala.
Wabula ebizuuse biraga nti Zaake yali akimanyi bulungi nti ensimbi zino zijja era yagezaako okusaba azifune mu kiro ekyakeesa olunaku lw’ embaga kuba yalina obwetaavu bweyali ayagala okumaliriza.
Okusinziira ku nsonda ezeesigika ezabadde mu lukiiko lw’abakulembeze b’oludda oluvuganya olwatudde ku Lwokubiri lwa wiiki eno, Zaake yeemulugunya ku nsimbi zino obukadde 10 kuba ekisuubizo kyali kya bukadde 20 era zaalina kumuweebwa mu kyama so si ku mbaga kwennyini.
Ensonda era ziraga nti ekikolwa kino kyava ku bawagizi b’ekibiina ki NUP abaali abangi ku mukolo nga kyandibadde kya buswanvu Zaake okukwata ensimbi ate za Sipiika Among ng’ ate buli lukya agezaako okubalaga nti talina nkolagana yonna naye.
Abamu ku bamanyi ensonga bagamba nti ekikolwa kya Zaake kyali kityoboola ekitiibwa kye ng’ omubaka wa Palamenti era Kawasa.
Enkolagana ya Zaake ne Sipiika Among yali yagootaana era natuuka n’okugubwa ku bwa Kamisona wa Palamenti nga bamulanga okuvvoola ekitiibwa kya Sipiika wadde yaddukira mu kkooti nga awakanya eky’okugobwa nga agamba nti tewali bwenkanya ku ye.
Ekyaddirira kwali kulagira n’emmotoka eyamuweebwa nga Kamisona wa Palamenti okumuggyibwako wabula negyebuli eno eno poliisi ekyaginoonya.
Enkola ya Zaake bangi ku bannakibiina ki NUP baginyigira nga bagamba nti evumaganya ekibiina kuba Zaake n’abavubuka mu kibiina kino baliko abakulu bebatyoboola obutereevu ekintu ekifiiriza ekibiina obuwagizi nga abasinga bakitya olw’ enneeyisa ey’ ekiyaaye.
Bano bavumye awamu n’ okutyoboola buli agezaako okubagamba era abalozezza ku bukambwe bwabwe mulimu namyuka Pulezidenti w’ekibiina mu Buganda, Owek. Mathias Mpuuga ekireetawo ebibuuzo ku biseera by’ ekibiina eby’ omu maaso.