Ebyobufuzi

Ebyabadde mukafubo k’abasodokusi ne Pulezidenti Museveni

Pulezidenti Museveni: Ebyabadde mukafubo k'abasodokusi ne

Wiiki ewedde abakulu munzikiria y’abasodokusi basisinkanye pulezidenti Museveni, oluvannyuma lw’okuziika abadde akulira enzikiriza eno mu Uganda metropolitan Jonah Lwanga, eyafiira mu gwanga lya Buyonani gye yali agenze kumirimu emitongole.

Abakulu munzikiriza eno batutegeezezza ng’omukulembeze wabwe ow’oluntikka paapa Theodorus II bwe yabalagira okukola entekateka eyamangu okusobola okusisinkana omukulembeze w’egwanga ate n’okussawo enkolagana ennungi wakati w’enzikiriza eno ne gavumenti ebadde yaggwawo olw’ebigambo ebyobusagwa ebibadde biva mu Ssabasumba Jonah Lwanga, ebibadde byogeza abakulu mu gavumenti obwaama n’abamu okugamba nti ayekera gavumenti.

Enzinda okuva ku klesia e Namungoona zatutegezezza nga paapa bwe yabawandikidde ebbaluwa eyajidde ku mulambo ng’essaba ba faaza okuyita mu babaka ba palamenti abali munzikiriza eno omuli Theodore Ssekikubo okusobola okukola entekateka ebatuusa ku pulezidenti, basobole okusawo enkolagana ennungi ate n’okumwanjulira bishop Makorios Andreas Tillyridis eyavudde e Nairobi mu Kenya agenda okugira ng’akulembera enzikiriza eno mu Uganda, nga bwe betegekera synod mwe banalondera Ssabasumba omugya.

Ensonda era zategezezza nga paapa Theodorus II bwasuubirwa okujja mu Uganda nga wayise ennaku 40 bukya Ssabasumba Jonah Lwanga afa, era nga babadde balina okutegeeza omukulembeze w’egwanga mu budde nga tannagya.

Omumyuuka wa pulezidenti Jessica Alupo bwe yabadde mu kuziika yakakasizza nga pulezidenti Museveni bwe yafunye ebbaluwa ng’abakulu munzikiriza eno basaba okumusisinkana era n’akikiriza. Ono era yategezezza nga bwalindiridde okusisinkana paapa wabasodokusi n’okubako ebintu ebyenjawulo bye bakkanyako bwanaba akyadde mu Uganda.

Munsisinkano eyabadde mu maka g’obwa Pulezidenti e Ntebe, pulezidenti Museveni yasasidde abakulu bano olw’okufiirwa Ssabasumba Lwanga era n’ategeeza nga bwategeka okufuna olunaku okusobola okugenda okukubagiza abasodokusi ate n’okussa ekimuli kuntaana. Pulezidenti era yategezezza nga bwe yesunga okwogeramu ne paapa Theodorus II beanabeera akyaddeko mu gwanga.

Ku lw’okubiri palamenti ya Uganda yasiimye emirimu amakula egikoleddwa ssabasumba Jonah Lwanga omuli okuwabula gavumenti ate n’okulwanirira ennyo eddembe ly’obuntu.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Most Popular

To Top