Pulezidenti Museveni wadde tawunyikamu naye alina abasajja batayinza kumala gawa mwagaanya okusinziira ku omu ku bantu baffe abomunda enyo era mu bantu bano ne Gen Sejusa mwali.
Abalala abamu bagenze bafa enyimbe zabwe nga omugenzi Gen Kasirye Ggwanga, Sserwanga Lwanga, Gen Aronda Nyakairima, Col Noble Mayombo ne Gen Kaziini wabula bangi bakyaliwo omuli Gen Sejusa , Gen Otafiire nabalala.
Ensonda mu NRM zaategeezezza nti Pulezidenti Museveni alina abasajja be baamanyi obulungi nti ensonga basobola okuzisimbako amannyo ne bamuzoganya kyatayagala mu kiseera kino okusobola okuggusa pulogulaamuze okunywezza obuyinza, securite nenkulakulana yeggwanga.
Ebyaliwo wakati wa 1999 ne 2001 nga Col Kiiza Besigye amera okutandikira mu maggye noluvanyuma Pulezidenti namukkiriza okuvaamu ate namwesimbako byebimu ku nsonga enyingi lwaki Gen David Sejusa ayinza obutava mangu mu maggye ye nga bwayagala.
Omu ku bannansiko ba NRA/ NRM yategeezezza omuwandiisi Ono nti Gen Sejusa kuva dda nga simusajja mwangu era nafuna waabalira asobola okufuluka Bobi Wine oba Col Kiiza Besigye omulala kasita asobola okwetunda mu bantu ne bamusonyiwa ebinubuule byafunidde mu buwerezabwe mu maggye mwakoze mu bifo ebitali bimu naddala weyabeerera mu bukiikakkono bweggwanga.
Ono yategeezezza nti ne mu Lutalo lwomunsiko Gen Sejusa yatawanyanga mukamawe Pulezidenti Museveni ne banne. Olumu kigambibwa nti abayeekera bawera okuwasa nokukwanira mu Lutalo kyokka nabiwakanya ngagamba nti abamu ku bakulu munsiko baalinayo abakazi nga tebayinza ate kumugaana ne banne nabo kukola kye baagala.
Olulala Genero kigambibwa nti yeewaggula nakola olulumba ku nfo zamagye ga Dr Obote e Kyamusisi, Mityana wadde mukamawe yali aluyimiriza ngagamba nti abalwanyi baali tebetegese bulungi kwanganga mulabe.
Kigambibwa nti mu lutalo luno abayeekera baayisibwa bubi era bangi battibwa olwo Gen Sejusa ne bamuteeka mu ‘mabuusu” kyokka mu kwewozaako yagamba nti omubaka gw’e baamutumira teyamugamba ekibi omubaka yoomu ku baali batiddwa mu lulumba olwo.
” Ebikolwa ebyo byonna bikulaga nti Gen Sejusa bwamalira abeera amaliridde’ munnansiko bwe yagambye.
Kino kidiridde kkooti ensukulumu okugaana Genero okunyuka amagye nga kkooti enkulu bwe yalagira mu 2016.
Omulamuzi wa kkooti enkulu,In Justice Margaret Oguli Oumo yategeeza nti Gen Sejusa yali waddembe okuva mu maggye nga bweyali ayagala nti kubanga amagye genyini geegasooka okumwesamba bwe gamussa ku Katebe, ne gamuma omusaala, obukuumi obumugwana, okusaba bakamabe awummule ne batamuddamu nebirala.
Sejusa azze yeezooba ne Gavumenti ku yokunyuka amagye okuva mu biseera bya 2008.
Kyokka okusalawo kwa Oguli kwawakanyizibwa ssaabawolereza wa Gavumenti,eyaddukira mu kkooti ensukulumu Nasaba ebya Genero okuva mu maggye bisazibwemu ekintu kkooti eno kye yakoze negamba nti Gen Sejusa asigale mu maggye era akyagalimu.
Abalamuzi ba kkooti eno bonna okwabadde Christopher Madrama, Irene Mulyagonja ne Monica Mugenyi bagambye nti Gen Sejusa olwokuba yasaba akakiiko kamagye okuwummula kyokka ne katamwanukula mu nnaku 90 ezessalira tekitegeeza nti yafuna beetu kugavaamu nokuddukira mu kkooti enkulu yeebeera emuwummuza nti amateeka ga UPDF sibwegatyo bwegakola.
Genero oluvanyuma yategeezezza nti y’abadde tagenda kujulira. Kyokka abamu ku batunulizi bagambye nti ayinza okuba yabazeemu lisooka kubanja musaalagwe nansako ebyemyaka egyo gyonna gyabadde tagiwebwa eri mu buwumbi kyokka waliwo abayongeddeko nti ennaku zino yasirika nti wayinza okubaawo ekiriwo.