Ebyobufuzi

EBYOMUBAKA ZAAKE BYEYONGEDDE OKUBIJJA.- leero palamenti enkonamu omusumali ogusemba

EBYOMUBAKA ZAAKE BYEYONGEDDE OKUBIJJA.- leero palamenti enkonamu omusumali ogusemba

Omubaka wa municipali ye mityana hon Francis zaake butebi  byongedde okumwononekera .yandiwakukululwa ku bwa kamisina wa parliament, ono yawawabirwa omubaka Matin mapendusi  mu kakiiko ka palament akakwasisa empisa ku bigambibwa nti yavvoola omumyuka wa siipika Hon Annet Anite Amongo n’ ekikibwa kya palamenti  bweyakosesa ebigambo ebitasana ng’ayiita ku mukutugwe ogwa twitter.

Yagana okudda mu kakiiko.

Ku lwokusatu lwa sabiti ewedde zaake nebanamateekabe balina okulabikako mu kakiko kano akamanyiddwa nga

“parliamentary Committee on rules and privileges ” okwongera okunyibwa kunsonga eno nga bweyali alambise ku bbalaza wabula bakanda kubalinda nga tebalabikako ,wabula oluvanyuma bafuna ekiwandiiko ekyalimu okwemulugunya kwo’mubaka ng’akakiiko bwekalimu kyekubira  nga n’ekyokumubulirizako omumyuka wa siipika ye yabalagira .

Bweyabadde asoma ekiwandiiko kino sentebe w’akakiiko kano hon Abudl Katuntu yakinoganyiza nti newankubadde zaake ne banamateeka tebalabise bakugenda maaso n’ okunonyereza era singa kinazulwa zaake wakukwatibwa kunkona.

Akakiiko kano kakunganyiza obujjulizi okuva mu buli nsonda nga batuse ne mukiyongole ky’ebyempuliziganya “UCC” okwongera okuluma omubaka.

Zaake awanjaga.

Zaake agamba nti naye ebigambo nti yabonerezebwa dda nga tanagenda namukakiiko nga neyakulemberamu okumujjamu obwesige hon Matin Mapenduuzi aliko abamuvujirira, ono era yategezeza nga ne deputy siipika bweyamwogerako ebigambo ebinene ebyamukosa  wabula nga kati bamufukidde ekiiso ky’e mbuzi.

Bwagobwa biki byafirwa?

Singa omubaka katonda tamuddiramu ayorrkedde okufirwa omusaala omusava nga kamisona, obukuumi, okwetaba mu kusalirawo eggwanga okwabane byebyolekedde okumuyita mungalo.

Click to comment

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *

Agasinze okusomebwa

To Top