Babitaddemu eddogo, enguzi n’okutiisatiisa: Ekiri mu makooti essaawa eno kayisanyo ng’ababaka 102 abaloopeddwa ku misango gy’okulonda babagye mu palamenti, balwana okusigalayo. Abamu basula mu nsaasi, abalala bakozesa nguzi okutokota ababawawaabira ne bekikwatako ate abalala basazeewo kutiisatiiisa.
Wiiki ewedde ababaka babiri okuli David Sserukenya (Makindye ssabagabo) ne Richard Ssebamala Bukoto Central) baaluyiseeko kyokka bannaabwe 102 bakyatuuyana.Bano abasinga okuba ku mimwa gy’abantu kuliko Muhammad Nsereko owa Kampala Central, Muhammad Sseggirinya owa Kawempe North, Joel Ssenyonyi wa Nakawa East, Joyce Bagala omubaka omukyala owa Mityana n’abalala.
Okuvaamu kwa Salam Musumba eyabadde awakanya Kadaga kuliko ebibuuzo wadde ye yagambye nti baabadde bamutiisatiisa (laba eggulire lino mu ssekanolya ono) ate n’ebyayogeddwa Nantaba n’ababaka abalala bitiisa.
Ensonda zaategeezezza nti waliwo omubaka mu Kampala eyapangisizza abalaguzi basindike amayembe gatabangule kkooti. Ebyo nga bikyali awo omubaka wa Kampala central Nsereko Muhammad yatwalibwa mu kkooti Chairman Fred Nyanzi kyokka mu lutuula lwa kkooti olwasoose bannamateeka ba Nsereko bategeezezza kkooti eyabadde ekubirizibwa Margret Apiny nti omuntu waabwe tafunangako ku kiwandiiko kiraga nti alina omusango mu kkooti ogw’ekuusa ku kubba akalulu, era wano omulamuzi yalagidde bannamateeka ba Nyanzi banoonye Muhammad Nsereko bamukwase ekiwandiiko ky’omusango era naalagira omusango guddemu leero ku Mmande.
Ate ebya Kidandala byeyongedde okubgya oluvannyuma lwa Kkooti okwongezaayo omusango gweyawabira omubaka wa Kawempe North Muhamad Sseggirinya ogw’obutasoma okutuuka nga 2 omwezi ogujja kisobozese bannamateeka ba Kidandala abakuleberwa Kenth Paul Kakande okuwa Sseggirinya ekibaluwa ekiraga nti alina omusango, kino kiddiridde kkooti okulagira oludda lwa Seggirinya obutabeerawo mu kkooti nga kigambibwa nti tebannafuna ku kiwandiiko kiraga nti alina omusango mu kkooti ogw’obutasoma.
Keneth Paul Kakadde looya wa Sulaiman Kindandala agambye nti Seggirinya yeebulankanya bwebulankanya naye ebbaluwa emulaga nti alina omusango bagimuweera mu kkomera e Kitalya kyokka kibeewunyisizza nga kkooti ebagamba nga Seggirinya bwatafunanga ku kiwandiiko kyokka aweze nti ku luno Sseggirinya bagenda kumuyigga basobole okumukwanga ekibaluwa kino era nga 2 omwezi ogujja bajja kukomawo nga buli kimu kiwedde nga kkooti ebakwasa buwanguzi bwabwe.
Salaamu Musumba yaggyeeyo omusango gwe yatwala mu kkooti ng’awawaabira Hon. Rebecca Kadaga eyawangula ekifo ky’omubaka omukyala owa Kamuli gw’okumubba akalulu kyokka ono omusango yaguggyeeyo ng’agamba nti ku lw’obulungi bwa Busoga asazeewo okuggyayo omusango kyokka wadde akoze kino kkooti emulagidde aliyirire Kadaga kyayonoonedde mu musango guno.
Abalala abakyattunka ku misango gino kuli Betty Ssentamu eyawabira Sylvia Nayebale eyawangula ekifo ky’omubaka omukyala owa Gomba kyokka bano balagiddwa okuteesa omusango bagumalire wabweru wa kkooti Ate Joel Ssenyonyi owa Nakawa West kkooti eragidde bakomewo nga 26 omwezi ogujja omusango gwe baamuwawaabira omuyindi Shumk ng’amulumiriza okubeera n’obuyigirize obw’ekibogwe n’okukyusakyusa amannya oluvannyuma lwa balooyabe okutegeeza kkooti nti nabo tebafunanga ku kiwandiiko kiraga nti balina omusango mu kkooti.