Eggulo webwazibidde nga kalibukambwe Vladimir Putin alagidde abajaasi abalwanyisa bbomu za nukuliya okubeera obulindaala ate nga mu Ukraine bbomu nemizinga ebyabadde bisirikiriddemu bivuga buteddiza.
Putin omukambwe ate muteguya ndowooza okuva lwe bamuzaala obwomu ate nga ne bazaddebe bombi baafa dda yasoose kukweka famileye mpuku eringa ekibuga esangibwa wansi mu nsozi ze Altai mu Siberia ekyongedde okutiisa ensi.
Bino byonna bidiridde ennaku 12 okuyulitawo nga Putin alumbye eggwanga Lya Ukraine erimu ku geekutula ku USSR Kati Russia ngagamba nti Amerika ne banywanyi baayo mu NATO bategeka okulisinziiramu bamukube Russia wadde takyogera butereevu yeerimbise mu kutaasa Abarussia abagambibwa nti battibwa mu Ukraine gye baasigalira. Ol
Kyokka Ukraine ebadde ekyalwanye masajja kubanga amagye gaayo naga Russia battiganye era emirambo egyakaggwa gisoba mu 2000, ebizimbe , amakolero ,enkambiz’amagye ebitokomose tobala.
Ebitongole byamawulire okuli BBC, CNN ,Daily Mail nabakugu mu byentalo baategeezezza nti Amerika, Bufaransa ne Bungereza namawanga ga NATO amalala baabadde bakyatidde okuyingira eddwaliro okubagana ne Russia kubanga olwo ssematalo owokusatu ate nga wa nukuliya abeera asonze.
Kyokka singa Putin tayimirizza ku mmundu Jeo Biden eyaandise edda okunyiiga okwesogga eddwaniro ensi nesaanawo. Ensonda e Pentagon ekitebe kya Amerika ekyamagye zaategeezezza nti bakomando ba Amerika ne Yisirayiri baabadde batandise okukola p pulaani yokwokya Russia ne China singa ebintu byonooneka.
Mukiseera kino Amerika ne NATO beebavugirira Ukraine ebyokulwanyisa ebikyalemesezza amagye ga Russia okuwamba Ukraine. Putin abamu gw’e batandise okulagula nti bwatawebwa yandimaliriza nga Hitler oba amagyege okumuwamba ali mu kuluma mba yagaanye nokukwata ssimu ya mukaziwe Lyudmila Aleksandrovna Ocheretnaya nga kigambibwa nti ekyabamu ku Bannansi e Russia okutandika okwekalakaasa nga bawakanya olutalo kimukanze.
Abantu abasoba mu mutwalo bakwate ate ayiye abawanvu nabampi okulaba nti obwegugungo obwengeri eno bukoma atunke na Lutalo lwe yeetaddemu ne Ukraine .
LWAKI AMERIKA NE NATO ZASOOSE MUTYA
Amerika namawanga ga NATO gasoose kutya kwanganga Russia eyalumbye Ukraine olwokutya kubanga bonna bakirimaanyi nga bayinza okuyitawo kyokka era balowoozezza nti Putin tagenda kulwana nga bwakoze.
NATO nayo ekimanyi nti okumenya endagaano ezimu ezisosonkereza Russia omuli nokutuuma amagye nebyokulwanyisa mu Ukraine yekanaluzaala.
Amerika ne banne nabo bazze bafutiza amawanga n’okutta abakulembeze nga Saddam Hussein eyali owa Iraq, Col Muamar Qaddaffi eyali owa Libya ate Bashir Assad’ owa Syria akyali ku bwakatonda ngebyokuba Cuba mu myaka gyenkaaga olwa Russia okwagala okufuulayo beesi obigyeko.
Wabula abatunulizi balabudde nti singa Putin alemerako ekizigo kiyinza okuyomberwako Amerika ne banne ne beesogga ensiike kubanga ne Putin okulowooza nti akyayinza okuzaawo USSR eyasaanawo nga tanakwata buyinza tekikyasoboka.
PUTIN MUGAGGA MUVUNDU
Bwebaatidde okumukuba obutereevu Amerika ne banne kye baakoze kukaliga Russia natti mu byobusuubuzi ebisinga n’abamu ku banene be.
Wabula ye nga Putin natti zikyamulese bali kubanga mugagga MUVUNDU asinga obugagga mu Russia wadde ngakikweka.
Baatidde nti okumala gamufubutukira bayinza nokusuula ebyenfuna byensi yonna.
Mu bigambo Gavumenti ya Russia egamba nti Putin asasulwa emitwalo gya ddoola za Amerika 14 buli mwezi amaka agomulembe ne loole satu kyokka buno bulimba obugagga bwa Putin busoba mu buwumbi bwa ddoola za Amerika 200 era yandiba nga ye musajja asinga obugagga mu nsi.
EBITIISA KU PUTIN
Ku nsi talina kyatya “mutemu”
awedde emirimu , omujaasi ate mbega nakinku eyakolerako mu kitongole kya Russia ekikessi ekya KGB okumala emyaka 16 nga yakuguka mu byamateeka.
Abamumanyi bagamba nti alinga alina ekiwuka mumutwe kyasalawo toyinza kukimulemesa.
Mu 1991 ku ddala Lya Lt Col yalekulira to begin a political career in Saint Petersburg. He moved to Moscow nagenda e Moscow gyeyeegattira ku Gavumenti ya Pulezidenti
Boris Yeltsin ngakulira seculite ate oluvanyuma mangu awo nalondebwa ku bwa Katikkiro mu August wa 1999 kyokka Boris yalekulira mu myezi ena ng’ono amulonze olwebizibu Russia bye yali eyitamu Putin nafuuka Pulezidenti owekiseera mu 1999 okutuuka mu
2004 lwe baddamu okumulonda ekisanja ekyobiri okutuusa mu 2008. Wakati wa 2008 ne 2012 yali Katikkiro olwokuba ssemateeka yali amukugira nga Olwo musajjawe Dmitry Medvedev, ye Pulezidenti kyokka nga kumpi Putin era yafuga.
Mu 2012 yakomawo navuganya era nawangula mu kalulu akaalimu emivuyo ne mu 2018 naddamu okulondebwa.
Kati nebisanja yabigyewo agenda kuddamu okuvuganya afuge ebisanja ebirala bibiri okutuuka mu 2036 ngafuga eggwanga kirimaanyi era erimu ku gasinga okukola ebyokulwanyisa.